English
stringlengths
1
525
Luganda
stringlengths
1
522
So likewise you, except you utter by the tongue plain speech, how shall it be known what is said ? For you shall be speaking into the air.
Bwe mutyo nammwe bwe mutaaleetenga mu lulimi eddoboozi eriwulikika amangu, ekyogerwa kinaategeerwanga kitya? kubanga mulyogerera mu bbanga.
There are, for example, so many kinds of tongues in this world; and none is without voice.
Mpozzi waliwo mu nsi engeri z'ennimi bwe ziti, so siwali ngeri eterina makulu.
If then I know not the power of the voice, I shall be to him to whom I speak a barbarian; and he that speaketh, a barbarian to me.
Kale bwe ssimanya makulu ga ddoboozi, ndibeera ng'ajoboja eri oyo ayogera, n'oyo ayogera alibeera ng'ajoboja eri nze.
So you also, forasmuch as you are zealous of spirits, seek to abound unto the edifying of the church.
Bwe mutyo nammwe, kubanga mwegomba eby'omwoyo, mwagalenga okweyongera olw'okuzimba ekkanisa.
And therefore he that speaketh by a tongue, let him pray that he may interpret.
Kale ayogera olulimi asabenga ategeezenga.
For if I pray in a tongue, my spirit prayeth, but my understanding is without fruit.
Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo gwange gusaba, naye amagezi gange tegabala bibala.
What is it then ? I will pray with the spirit, I will pray also with the understanding; I will sing with the spirit, I will sing also with the understanding.
Kale kiki? nnaasabyanga omwoyo, era nnaasabyanga n'amagezi, nnaayimbyanga mwoyo, era nnaayimbyanga n'amagezi.
Else if thou shalt bless with the spirit, how shall he that holdeth the place of the unlearned say, Amen, to thy blessing ? because he knoweth not what thou sayest.
Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abeera mu kifo ky'oyo atamanyi anaddangamu atya nti Amiina olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde?
For thou indeed givest thanks well, but the other is not edified.
Kubanga ggwe weebaza bulungi, naye omulala tazimbibwa.
I thank my God I speak with all your tongues.
Nneebaza Katonda, mbasinga mwenna okwoera ennimi;
But in the church I had rather speak five words with my understanding, that I may instruct others also; than ten thousand words in a tongue.
naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitaano n'amagezi gange, ndyoke njigirizenga n'abalala, okusinga ebigambo akakumi mu lulimi obulimi.
Brethren, do not become children in sense: but in malice be children, and in sense be perfect.
Ab'oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mubeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu.
In the law it is written: In other tongues and other lips I will speak to this people; and neither so will they hear me, saith the Lord.
Kyawandiikibwa mu mateeka nti Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannaggwanga; era newakubadde bwe kityo tebalimpulira, bw'ayogera Mukama.
Wherefore tongues are for a sign, not to believers, but to unbelievers; but prophecies not to unbelievers, but to believers.
Ennimi kyeziva zibeera akabonero, si eri abo abakkiriza, wabula eri abatakkiriza: naye okubuulira tekubeera kabonero eri abatakkiriza wabula eri abakkiriza.
If therefore the whole church come together into one place, and all speak with tongues, and there come in unlearned persons or infidels, will they not say that you are mad ?
Kale ekkanisa yonna bw'eba ng'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne boogera ennimi, ne wayingira abatamanyi oba abatakkiriza, tebaligamba nti mulaluse?
But if all prophesy, and there come in one that believeth not, or an unlearned person, he is convinced of all, he is judged of all.
Naye bona bwe babuulira, ne wayingira atakkiriza oba atamanyi, anenyezebwa bonna, asalirwa bonna omusango;
The secrets of his heart are made manifest; and so, falling down on his face, he will adore God, affirming that God is among you indeed.
ebyama eby'omu mutima gwe birabisibwa; era bw'atyo alivuunama amaaso, n'asinza Katonda, ng'ayogera nga Katonda ali mu mmwe ddala.
How is it then, brethren ? When you come together, every one of you hath a psalm, hath a doctrine, hath a revelation, hath a tongue, hath an interpretation: let all things be done to edification.
Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba.
If any speak with a tongue, let it be by two, or at the most by three, and in course, and let one interpret.
Omuntu bw'ayogeranga olulimi, boogerenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu mpalo, era omu avvuunulenga:
But if there be no interpreter, let him hold his peace in the church, and speak to himself and to God.
naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye era ne Katonda.
And let the prophets speak, two or three; and let the rest judge.
Ne bannabbi boogerenga babiri oba basatu, n'abalala baawulenga.
But if any thing be revealed to another sitting, let the first hold his peace.
Naye omulala atudde bw'abikkulirwanga, eyasoose asirikenga.
For you may all prophesy one by one; that all may learn, and all may be exhorted:
Kubanga mwenna muyinza okubuuliranga kinnoomu, bonna bayigenga, era bonna basanyusibwenga;
And the spirits of the prophets are subject to the prophets.
n'emyoyo gya bannabbi gifugibwa bannabbi;
For God is not the God of dissension, but of peace: as also I teach in all the churches of the saints.
kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe; nga mu kkanisa zonna ez'abatukuvu.
Let women keep silence in the churches: for it is not permitted them to speak, but to be subject, as also the law saith.
Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebalagirwa kwogera; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe googera.
But if they would learn any thing, let them ask their husbands at home. For it is a shame for a woman to speak in the church.
Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa.
Or did the word of God come out from you ? Or came it only unto you ?
Oba gye muli ekigambo kya Katonda gye kyava? oba kyatuuka eri mmwe mwekka?
If any seem to be a prophet, or spiritual, let him know the things that I write to you, that they are the commandments of the Lord.
Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe.
But if any man know not, he shall not be known.
Naye omuntu yenna bw'atategeera, aleme okutegeera.
Wherefore, brethren, be zealous to prophesy; and forbid not to speak with tongues.
Kale baganda bange, mwegombenga okubuuliranga, so temuziyizanga kwogeranga nnimi.
But let all things be done decently, and according to order.
Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi.
Corinthians
Abakkolinso
AND I, brethren, when I came to you, came not in loftiness of speech or of wisdom, declaring unto you the testimony of Christ.
Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda,
For I judged not myself to know anything among you, but Jesus Christ, and him crucified.
Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa.
And I was with you in weakness, and in fear, and in much trembling.
Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi.
And my speech and my preaching was not in the persuasive words of human wisdom, but in shewing of the Spirit and power;
N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi:
That your faith might not stand on the wisdom of men, but on the power of God.
okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda.
Howbeit we speak wisdom among the perfect: yet not the wisdom of this world, neither of the princes of this world that come to nought;
Naye amagezi tugoogera mu abo abatuukirira: naye amagezi agatali ga mu mirembe gino, era agatali ga bakulu ab'omu mirembe gino, abaggwaawo:
But we speak the wisdom of God in a mystery, a wisdom which is hidden, which God ordained before the world, unto our glory :
naye twogera amagezi ga Katonda mu kyama, gali agakisibwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe:
Which none of the princes of this world knew; for if they had known it, they would never have crucified the Lord of glory.
abakulu bonna ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omu: kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama wa kitiibwa:
But, as it is written: That eye hath not seen, nor ear heard, neither hath it entered into the heart of man, what things God hath prepared for them that love him.
naye nga bwe kyawandiikibwa nti Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.
But to us God hath revealed them, by this Spirit. For the Spirit searcheth all things, yea, the deep things of God.
Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.
For what man knoweth the things of a man, but the spirit of a man that is in him? So the things also that are of God no man knoweth, but the Spirit of God.
Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda.
Now we have received not the spirit of this world, but the Spirit that is of God; that we may know the things that are given us from God.
Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa.
Which things also we speak, not in the learned words of human wisdom; but in the doctrine of the Spirit, comparing spiritual things with spiritual.
N'okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo.
But the sensual man perceiveth not these things that are of the Spirit of God; for it is foolishness to him, and he cannot understand, because it is spiritually examined.
Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kabitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.
But the spiritual man judgeth all things; and he himself is judged of no man.
Naye omuntu ow'omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna.
For who hath known the mind of the Lord, that we may instruct him? But we have the mind of Christ.
Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize? Naye ffe tulina okulowooza kwa Kristo.
Timothy
Timoseewo
Now the Spirit manifestly saith, that in the last times some shall depart from the faith, giving heed to spirits of error, and doctrines of devils,
Naye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n'okuyigiriza kwa basetaani,
Speaking lies in hypocrisy, and having their conscience seared,
olw'obunnanfuusi bw'abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe nga n'ekyuma ekyokya,
Forbidding to marry, to abstain from meats, which God hath created to be received with thanksgiving by the faithful, and by them that have known the truth.
nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima.
For every creature of God is good, and nothing to be rejected that is received with thanksgiving:
Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, so siwali kya kusuula bwe kitoolebwa n'okwebaza:
For it is sanctified by the word of God and prayer.
kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n'okusaba.
These things proposing to the brethren, thou shalt be a good minister of Christ Jesus, nourished up in the words of faith, and of the good doctrine which thou hast attained unto.
Bw'onojjukizanga ab'oluganda ebyo, onoobaaga muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okukkiriza n'eby'okuyigiriza okulungi kwe wagoberera:
But avoid foolish and old wives' fables: and exercise thyself unto godliness.
naye enfumo ezitali za ddiini ez'obusirusiru z'oba olekanga. Weemanyiizenga okutya Katonda:
For bodily exercise is profitable to little: but godliness is profitable to all things, having promise of the life that now is, and of that which is to come.
kubanga okwemanyiiza kw'omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa kaakano n'obw'obugenda okujja.
A faithful saying and worthy of all acceptation.
Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okukkirizibwa kwonna.
For therefore we labor and are reviled, because we hope in the living God, who is the Saviour of all men, especially of the faithful.
Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, okusinga w'abakkiriza,
These things command and teach.
Lagiranga ebyo obiyigirizenga,
Let no man despise thy youth: but be thou an example of the faithful in word, in conversation, in charity, in faith, in chastity.
Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kya kulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga: mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu.
Till I come, attend unto reading, to exhortation, and to doctrine.
Okutuusa lwe ndijja, nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okuyigirizanga.
Neglect not the grace that is in thee, which was given thee by prophesy, with imposition of the hands of the priesthood.
Tolekanga kirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa olw'obunnabbi awamu n'okuteekebwako emikono gy'abakadde.
Meditate upon these things, be wholly in these things: that thy profiting may be manifest to all.
Ebyo obiroweozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna.
Take heed to thyself and to doctrine: be earnest in them. For in doing this thou shalt both save thyself and them that hear thee.
Weekuumenga wekka n'okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola wekka era n'abo abakuwulira.
Timothy
Timoseewo
A faithful saying: if a man desire the office of a bishop, he desireth a good work.
Kyesigwa ekigambo ekyo nti Omuntu bw'ayagalanga obulabirizi, yeegomba mulimu mulungi.
It behoveth therefore a bishop to be blameless, the husband of one wife, sober, prudent, of good behaviour, chaste, given to hospitality, a teacher,
Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi,
Not given to wine, no striker, but modest, not quarrelsome, not covetous, but
atayombera ku mwenge, atakuba; naye omuwombeefu, atalwana, ateegomba bintu;
One that ruleth well his own house, having his children in subjection with all chastity.
afuga obulungi ennyumba ye ye, agonza abaana be mu kitiibwa kyonna;
But if a man know not how to rule his own house, how shall he take care of the church of God?
(naye omuntu bw'atamanya kufuga nnyumba ye ye, ayinza atya okujjanjaba ekkanisa ya Katonda?)
Not a neophyte: lest being puffed up with pride, he fall into the judgment of the devil.
si oyo eyaakakyuka, alemenga okwekulumbaza n'amala agwa mu musango gwa Setaani.
Moreover he must have a good testimony of them who are without: lest he fall into reproach and the snare of the devil.
Era nate kimugwanira okubeeranga n'okutegeezebwa okulungi eri abo ab'ebweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani.
Deacons in like manner chaste, not double tongued, not given to much wine, not greedy of filthy lucre:
Bwe batyo n'abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatanywanga mwenge mungi, si beegombi ba bintu;
Holding the mystery of faith in a pure conscience.
nga bakuuma ekyama eky'okukkiriza mu mwoyo omulungi.
And let these also first be proved: and so let them minister, having no crime.
Era nate abo basookenga okukemebwa, balyoke baweereze, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
The women in like manner chaste, not slanderers, but sober, faithful in all things.
Bwe batyo n'abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abatatamiira, abeesigwa mu byonna.
Let deacons be the husbands of one wife: who rule well their children, and their own houses.
Abaweereza babeereaga basajja ba mukazi omu, nga bafuga abaana baabwe obulungi n'ennyumba zaabwe bo.
For they that have ministered well, shall purchase to themselves a good degree, and much confidence in the faith which is in Christ Jesus.
Kubanga abamala okuweereza obulungi beefunira obukulu obulungi n'obugumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
These things I write to thee, hoping that I shall come to thee shortly.
Nkuwandiikidde ebyo nga nsuubira okujja gy'oli mangu;
But if I tarry long, that thou mayest know how thou oughtest to behave thyself in the house of God, which is the church of the living God, the pillar and ground of the truth.
naye bwe ndwanga olyoke obe ng'omanyi bwe kigwana okukolanga mu nnyumba ya Katonda, ye kkanisa ya Katonda omulamu, empagi n'omusingi eby'amazima.
And evidently great is the mystery of godliness, which was manifested in the flesh, was justified in the spirit, appeared unto angels, hath been preached unto the Gentiles, is believed in the world, is taken up in glory.
Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'akkirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa.
Timothy
Timoseewo
Whosoever are servants under the yoke, let them count their masters worthy of all honour; lest the name of the Lord and his doctrine be blasphemed.
Abali mu bufuge abaddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa.
But they that have believing masters, let them not despise them, because they are brethren; but serve them the rather, because they are faithful and beloved, who are partakers of the benefit. These things teach and exhort.
Era abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abassa ekimu mu kukolwa obulungi bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga.
If any man teach otherwise, and consent not to the sound words of our Lord Jesus Christ, and to that doctrine which is according to godliness,
Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, so nga takkiriza bigambo bya bulamu, bye bya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda;
He is proud, knowing nothing, but sick about questions and strifes of words; from which arise envies, contentions, blasphemies, evil suspicions,
nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambiza empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, okuteerera obubi,
Conflicts of men corrupted in mind, and who are destitute of the truth, supposing gain to be godliness.
okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda kwe kufuna amagoba.
But godliness with contentment is great gain.
Naye okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga ge magoba amangi:
For we brought nothing into this world: and certainly we can carry nothing out.
kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu;
But having food, and wherewith to be covered, with these we are content.
naye bwe tuba n’emmere n'ebyokwambala, ebyo binaatumalanga.
For they that will become rich, fall into temptation, and into the snare of the devil, and into many unprofitable and hurtful desires, which drown men into destruction and perdition.
Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira.
For the desire of money is the root of all evils; which some coveting have erred from the faith, and have entangled themselves in many sorrows.
Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi.
But thou, O man of God, fly these things: and pursue justice, godliness, faith, charity, patience, mildness.
Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo,ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu.
Fight the good fight of faith: lay hold on eternal life, whereunto thou art called, and hast confessed a good confession before many witnesses.
Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi.
I charge thee before God, who quickeneth all things, and before Christ Jesus, who gave testimony under Pontius Pilate, a good confession,
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato;
That thou keep the commandment without spot, blameless, unto the coming of our Lord Jesus Christ,
weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo:
Which in his times he shall shew who is the Blessed and only Mighty, the King of kings, and Lord of lords;
kw'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami;
Who only hath immortality, and inhabiteth light inaccessible, whom no man hath seen, nor can see: to whom be honour and empire everlasting. Amen.
alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.