English
stringlengths
1
525
Luganda
stringlengths
1
522
Not glorying beyond measure in other men's labours; but having hope of your increasing faith, to be magnified in you according to our rule abundantly;
nga tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala: naye nga tusuubira, okukkiriza kwammwe bwe kukula okugulumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira,
Yea, unto those places that are beyond you, to preach the gospel, not to glory in another man's rule, in those things that are made ready to our hand.
era n'okubuulira enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga mmwe, era obuteenyumiriza mu nsalo ey'abalala olw'ebyeteeseteese.
But he that glorieth, let him glory in the Lord.
Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.
For not he who commendeth himself, is approved, but he, whom God commendeth.
Kubanga eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula Mukama waffe gw'atendereza.
Corinthians
Abakkolinso
Therefore, seeing we have this ministration, according as we have obtained mercy, we faint not;
Kale, kubanga tulina okuweereza okwo, nga bwe twasaasirwa, tetuddirira:
But we renounce the hidden things of dishonesty, not walking in craftiness, nor adulterating the word of God; but by manifestation of the truth commending ourselves to every man's conscience, in the sight of God.
naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maaso ga Katonda.
And if our gospel be also hid, it is hid to them that are lost,
Naye okubikkibwako oba ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako mu abo ababula:
In whom the god of this world hath blinded the minds of unbelievers, that the light of the gospel of the glory of Christ, who is the image of God, should not shine unto them.
katonda ow'emirembe gino be yaziba amaaso g'amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw'enjiri ey'ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira.
For we preach not ourselves, but Jesus Christ our Lord; and ourselves your servants through Jesus.
Kubanga tetwebuulira fekka, wabula Kristo Yesu nga ye Mukama waffe, naffe nga tuli baddu bammwe ku lwa Yesu.
For God, who commanded the light to shine out of darkness, hath shined in our hearts, to give the light of the knowledge of the glory of God, in the face of Christ Jesus.
Kubanga Katonda ye yayogera nti Omusana gulyaka mu kizikiza, eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.
But we have this treasure in earthen vessels, that the excellency may be of the power of God, and not of us.
Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe;
In all things we suffer tribulation, but are not distressed; we are straitened, but are not destitute;
tutaayizibwa eruuyi n'eruuyi, naye tetunyigirizibwa; tweraliikirira, so si kweraliikiririra ddala:
We suffer persecution, but are not forsaken; we are cast down, but we perish not:
tuyiggayizibwa, naye tetulekebwa; tumeggebwa, naye tetuzikirira;
Always bearing about in our body the mortification of Jesus, that the life also of Jesus may be made manifest in our bodies.
bulijjo nga tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe.
For we who live are always delivered unto death for Jesus' sake; that the life also of Jesus may be made manifest in our mortal flesh.
Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa.
So then death worketh in us, but life in you.
Bwe kityo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu mu mmwe.
But having the same spirit of faith, as it is written: I believed, for which cause I have spoken; we also believe, for which cause we speak also:
Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti Nakkiriza, kyennava njogera era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera;
Knowing that he who raised up Jesus, will raise us up also with Jesus, and place us with you.
nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, era naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe.
For all things are for your sakes; that the grace abounding through many, may abound in thanksgiving unto the glory of God.
Kubanga byonna biri ku bwammwe, ekisa ekyo bwe kyeyongera olw'abangi kiryoke kyongezenga okwebaza Katonda aweebwe ekitiibwa.
For which cause we faint not; but though our outward man is corrupted, yet the inward man is renewed day by day.
Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe w'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka muggya bulijjo bulijjo.
For that which is at present momentary and light of our tribulation, worketh for us above measure exceedingly an eternal weight of glory.
Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe;
While we look not at the things which are seen, but at the things which are not seen. For the things which are seen, are temporal; but the things which are not seen, are eternal.
ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.
Corinthians
Abakkolinso
For concerning the ministry that is done towards the saints, it is superfluous for me to write unto you.
Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekinneetaagisa kubibawandiikira:
For I know your forward mind: for which I boast of you to the Macedonians. That Achaia also is ready from the year past, and your emulation hath provoked very many.
kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo.
Now I have sent the brethren, that the thing which we boast of concerning you, be not made void in this behalf, that (as I have said) you may be ready:
Naye ntuma ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke:
Lest, when the Macedonians shall come with me, and find you unprepared, we (not to say ye) should be ashamed in this matter.
mpozzi ab'e Makedoni abalala bwe balijja nange, bwebalibasanga nga temweteeseteese, ffe (obutoogera mmwe) tuleme okukwatibwa ensonyi mu kusuubira okwo.
Therefore I thought it necessary to desire the brethren that they would go to you before, and prepare this blessing before promised, to be ready, so as a blessing, not as covetousness.
Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere: okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasuubiza edda, gulyoke gweteeketeeke, ng'omukisa, so si ng'ekisoloozebwa.
Now this I say: He who soweth sparingly, shall also reap sparingly: and he who soweth in blessings, shall also reap blessings.
Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.
Every one as he hath determined in his heart, not with sadness, or of necessity: for God loveth a cheerful giver.
Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.
And God is able to make all grace abound in you; that ye always, having all sufficiency in all things, may abound to every good work,
Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:
As it is written: He hath dispersed abroad, he hath given to the poor: his justice remaineth for ever.
nga bwe kyawandiikibwa nti Yasasaanya, yagabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna.
And he that ministereth seed to the sower, will both give you bread to eat, and will multiply your seed, and increase the growth of the fruits of your justice:
Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga, anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:
That being enriched in all things, you may abound unto all simplicity, which worketh through us thanksgiving to God.
nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.
Because the administration of this office doth not only supply the want of the saints, but aboundeth also by many thanksgivings in the Lord,
Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda;
By the proof of this ministry, glorifying God for the obedience of your confession unto the gospel of Christ, and for the simplicity of your communicating unto them, and unto all.
kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda okw'okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna;
And in their praying for you, being desirous of you, because of the excellent grace of God in you.
era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe:
Thanks be to God for his unspeakable gift.
Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka.
Corinthians
Abakkolinso
Do we begin again to commend ourselves? Or do we need (as some do) epistles of commendation to you, or from you?
Tutanula nate okwetendereza fekka? oba twetaaga ebbaluwa, ng'abalala, ez'okutendereza eri mmwe, oba eziva gye muli?
You are our epistle, written in our hearts, which is known and read by all men:
Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe abantu bonna gye bategeera, gye basoma;
Being manifested, that you are the epistle of Christ, ministered by us, and written not with ink, but with the Spirit of the living God; not in tables of stone, but in the fleshly tables of the heart.
nga mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twamuweererezaamu, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande gye mitima egy'omubiri.
And such confidence we have, through Christ, towards God.
Era bwe tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo:
Not that we are sufficient to think any thing of ourselves, as of ourselves: but our sufficiency is from God.
si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowooza ekigambo kyonna nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda;
Who also hath made us fit ministers of the new testament, not in the letter, but in the spirit. For the letter killeth, but the spirit quickeneth.
era eyatuyinzisa ng'abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab’omwoyo: kubanga ennukuta etta; naye omwoyo guleeta obulamu.
Now if the ministration of death, engraven with letters upon stones, was glorious; so that the children of Israel could not steadfastly behold the face of Moses, for the glory of his countenance, which is made void:
Naye oba nga okuweereza okw’okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky’amaaso ge; ekyali kigenda akuggwaawo:
How shall not the ministration of the spirit be rather in glory?
okuweereza okw'omwoyo tekulisinga kuba na kitiibwa?
For if the ministration of condemnation be glory, much more the ministration of justice aboundeth in glory.
Kuba oba ng’okuweereza okw'omusango kye kitiibwa, okuweereza okw'obutuukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza ekitiibwa.
For even that which was glorious in this part was not glorified, by reason of the glory that excelleth.
Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiwebwa mu kigambo kino, olw'ekitiibwa ekisinga ekyo.
For if that which is done away was glorious, much more that which remaineth is in glory.
Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kisinga ennyo okuba n’ekitiibwa.
Having therefore such hope, we use much confidence:
Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi
And not as Moses put a veil upon his face, that the children of Israel might not steadfastly look on the face of that which is made void.
so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo:
But their senses were made dull. For, until this present day, the selfsame veil, in the reading of the old testament, remaineth not taken away (because in Christ it is made void).
naye amagezi gaabwe gaakakanyazibwa: kubanga n'okutuusa leero eky'okubikkako kiri kikyaliwo mu kusomebwa kw'endagaano ey'edda nga tekinnaggibwawo; ekyo kivaawo mu Kristo.
But even until this day, when Moses is read, the veil is upon their heart.
Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe.
But when they shall be converted to the Lord, the veil shall be taken away.
Naye bwe gukyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo.
Now the Lord is a Spirit. And where the Spirit of the Lord is, there is liberty.
Naye Mukama waffe gwe Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe.
But we all beholding the glory of the Lord with open face, are transformed into the same image from glory to glory, as by the Spirit of the Lord.
Naye ffe fenna, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso gaffe nga gaggiddwako eky'okubikkako, tufaananyizibwa engeri eri okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waffe Omwoyo.
Corinthians
Abakkolinso
Behold, this is the third time I am coming to you: In the mouth of two or three witnesses shall every word stand.
Kaakano njija gye muli omulundi ogw'okusatu. Mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera.
I have told before, and foretell, as present, and now absent, to them that sinned before, and to all the rest, that if I come again, I will not spare.
Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogw'okubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira;
Do you seek a proof of Christ that speaketh in me, who towards you is not weak, but is mighty in you?
kubanga munoonya ekitegeeza nga Kristo ayogerera mu nze; atali munafu eri mmwe, naye alina amaanyi mu mmwe:
For although he was crucified through weakness, yet he liveth by the power of God. For we also are weak in him: but we shall live with him by the power of God towards you.
kubanga yakomererwa olw'obunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda eri mmwe.
Try your own selves if you be in the faith; prove ye yourselves. Know you not your own selves, that Christ Jesus is in you, unless perhaps you be reprobates?
Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temwetegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? wabula nga muli abatasiimibwa.
But I trust that you shall know that we are not reprobates.
Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetuli batasiimibwa.
Now we pray God, that you may do no evil, not that we may appear approved, but that you may do that which is good, and that we may be as reprobates.
Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa.
For we can do nothing against the truth; but for the truth.
Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba.
For we rejoice that we are weak, and you are strong. This also we pray for, your perfection.
Kubanga tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, nammwe bwe muba n'amaanyi: era na kino tukisaba, mmwe, okutuukirira.
Therefore I write these things, being absent, that, being present, I may not deal more severely, according to the power which the Lord hath given me unto edification, and not unto destruction.
Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya.
For the rest, brethren, rejoice, be perfect, take exhortation, be of one mind, have peace; and the God of peace and of love shall be with you.
Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba. Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n'emirembe: ne Katonda ow'okwagala n'emirembe anaabanga nammwe.
Salute one another with a holy kiss.
Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
All the saints salute you.
Abatukuvu bonna babalamusizza.
The grace of our Lord Jesus Christ, and the charity of God, and the communication of the Holy Ghost be with you all. Amen.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.
Corinthians
Abakkolinso
If I must glory (it is not expedient indeed): but I will come to visions and revelations of the Lord.
Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newakubadde nga tekusaana; naye ka ŋŋende mu kwolesebwa n'okubikkulirwa kwa Mukama waffe.
I know a man in Christ above fourteen years ago (whether in the body, I know not, or out of the body, I know not; God knoweth), such a one caught up to the third heaven.
Mmanyi omuntu mu Kristo, eyaakamala emyaka ekkumi n'ena (oba mu mubiri, ssimanyi; oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi), okutwalibwa omuntu ali bw'atyo mu ggulu ery'okusatu.
And I know such a man (whether in the body, or out of the body, I know not: God knoweth):
Era, mmanyi omuntu ali bw'atyo (oba mu mubiri, oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi),
That he was caught up into paradise, and heard secret words, which it is not granted to man to utter.
bwe yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula.
For such an one I will glory; but for myself I will glory nothing, but in my infirmities.
Ku bw'omuntu ali bw'atyo nneenyumirizanga: naye ku bwange ssiryenyumiriza, wabula mu by'obunafu bwange.
For though I should have a mind to glory, I shall not be foolish; for I will say the truth. But I forbear, lest any man should think of me above that which he seeth in me, or any thing he heareth from me.
Kuba singa nayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga nandyogedde amazima: naye ndeka, omuntu yenna alemenga okundowooza okusinga bw'andaba oba bw'ampulira.
And lest the greatness of the revelations should exalt me, there was given me a sting of my flesh, an angel of Satan, to buffet me.
N'olw'obukulu obusinga ennyo obw'ebyo ebyabikkulibwa, nnemenga okugulumizibwa ennyo, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo.
For which thing thrice I besought the Lord, that it might depart from me.
Olw'ekigambo ekyo nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko.
And he said to me: My grace is sufficient for thee; for power is made perfect in infirmity. Gladly therefore will I glory in my infirmities, that the power of Christ may dwell in me.
N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.
For which cause I please myself in my infirmities, in reproaches, in necessities, in persecutions, in distresses, for Christ. For when I am weak, then am I powerful.
Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.
I am become foolish: you have compelled me. For I ought to have been commended by you: for I have no way come short of them that are above measure apostles, although I be nothing.
Nfuuse musirusiru: mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira okutenderezebwa mmwe; kubanga ssaasingibwa mu kigambo kyonna abatume abakulu ennyo, newakubadde nga nze siri kintu.
Yet the signs of my apostleship have been wrought on you, in all patience, in signs, and wonders, and mighty deeds.
Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi.
For what is there that you have had less than the other churches, but that I myself was not burthensome to you? Pardon me this injury.
Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingiramu, wabula nze nzekka obutabazitoowereranga? munsonyiwe ekyonoono ekyo.
Behold now the third time I am ready to come to you; and I will not be burthensome unto you. For I seek not the things that are yours, but you. For neither ought the children to lay up for the parents, but the parents for the children.
Laba, omulundi ogw'okusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera: kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe: kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.
But I most gladly will spend and be spent myself for your souls; although loving you more, I be loved less.
Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'essanyu eringi olw'obulamu bwammwe. Bwe nsinga okubaagala ennyo, njagalibwa katono?
But be it so: I did not burthen you: but being crafty, I caught you by guile.
Naye si musango, nze ssaabazitoowerera, naye, bwe nnali omugerengetanya, nabateega mu lukwe.
Did I overreach you by any of them whom I sent to you?
Omuntu yenna gwe nnabatumira nnamufunya amagoba eri mmwe?
I desired Titus, and I sent with him a brother. Did Titus overreach you? Did we not walk with the same spirit? did we not in the same steps?
Nnabuulirira Tito, ne ntuma ow'oluganda awamu naye. Tito yafuna amagoba eri mmwe? tetwatambula n'Omwoyo omu? tetwatambulira mu kisinde kimu?
Of old, think you that we excuse ourselves to you? We speak before God in Christ; but all things, my dearly beloved, for your edification.
Obw'edda mulowoozezza nga ffe tubawoleza ensonga. Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, bya kubazimba mmwe.
For I fear lest perhaps when I come I shall not find you such as I would, and that I shall be found by you such as you would not. Lest perhaps contentions, envyings, animosities, dissensions, detractions, whisperings, swellings, seditions, be among you.
Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi okubeera eyo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, okujeema;
Lest again, when I come, God humble me among you: and I mourn many of them that sinned before, and have not done penance for the uncleanness, and fornication, and lasciviousness, that they have committed.
bwe ndijja nate, Katonda wange aleme okuntoowaza eri mmwe, nange okubanakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.
Corinthians
Abakkolinso
And we helping do exhort you, that you receive not the grace of God in vain.
Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda
For he saith: In an accepted time have I heard thee; and in the day of salvation have I helped thee. Behold, now is the acceptable time; behold, now is the day of salvation.
(kubanga ayogera nti Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi):
Giving no offence to any man, that our ministry be not blamed:
nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa;
But in all things let us exhibit ourselves as the ministers of God, in much patience, in tribulation, in necessities, in distresses,
naye mu byonna nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku,