English
stringlengths
1
525
Luganda
stringlengths
1
522
Who serveth as a soldier at any time, at his own charges? Who planteth a vineyard, and eateth not of the fruit thereof? Who feedeth the flock, and eateth not of the milk of the flock?
Ani agenda okutabaala yonna yonna n'atabaaza ebintu bye ye? ani asimba olusuku n'atalya ku mmere yaamu? oba ani alunda ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo?
Speak I these things according to man? Or doth not the law also say these things?
Ebyo njogera bya buntu? oba era n'amateeka tegoogera bwe gatyo?
For it is written in the law of Moses: Thou shalt not muzzle the mouth of the ox that treadeth out the corn. Doth God take care for oxen?
Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti Togisibanga kamwa ente ng'ewuula. Katonda alowooza bya nte?
Or doth he say this indeed for our sakes? For these things are written for our sakes: that he that plougheth, should plough in hope; and he that thrasheth, in hope to receive fruit.
oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako.
If we have sown unto you spiritual things, is it a great matter if we reap your carnal things?
Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri?
If others be partakers of this power over you, why not we rather? Nevertheless, we have not used this power: but we bear all things, lest we should give any hindrance to the gospel of Christ.
Oba nga abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetusinga bo? Naye tetwakoza buyinza obwo; naye tugumiikiriza byonna, tulemenga okuleeta ekiziyiza enjiri ya Kristo.
Know you not, that they who work in the holy place, eat the things that are of the holy place; and they that serve the altar, partake with the altar?
Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto?
So also the Lord ordained that they who preach the gospel, should live by the gospel.
Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira enjiri baliisibwenga olw'enjiri.
But I have used none of these things. Neither have I written these things, that they should be so done unto me: for it is good for me to die, rather than that any man should make my glory void.
Naye nze sibikozanga ebyo n'ekimu: so siwandiise ebyo kiryoke kinkolerwenga nze bwe kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere.
For if I preach the gospel, it is no glory to me, for a necessity lieth upon me: for woe is unto me if I preach not the gospel.
Kubanga bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.
For if I do this thing willingly, I have a reward: but if against my will, a dispensation is committed to me:
Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera: naye oba nga ssikola na kwagala, nnateresebwa obuwanika.
What is my reward then? That preaching the gospel, I may deliver the gospel without charge, that I abuse not my power in the gospel.
Kale mpeera ki gye nnina? Mbuulira enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukoleza ddala obuyinza bwange mu njiri.
For whereas I was free as to all, I made myself the servant of all, that I might gain the more.
Kuba newakubadde nga ndi wa ddembe eri bonna, nneefuula muddu eri bonna, ndyoke nfunenga abangi.
And I became to the Jews, a Jew, that I might gain the Jews:
N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;
To them that are under the law, as if I were under the law, (whereas myself was not under the law,) that I might gain them that were under the law. To them that were without the law, as if I were without the law, (whereas I was not without the law of God, but was in the law of Christ,) that I might gain them that were without the law.
eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka.
To the weak I became weak, that I might gain the weak. I became all things to all men, that I might save all.
Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu.
And I do all things for the gospel's sake: that I may be made partaker thereof.
Era nkola byonna olw'enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo.
Know you not that they that run in the race, all run indeed, but one receiveth the prize ? So run that you may obtain.
Temumanyi ng'abadduka mu kuwakana baddukanira ddala bonna, naye aweebwako empeera omu? Muddukenga bwe mutyo mulyoke muweebwe.
And every one that striveth for the mastery, refraineth himself from all things: and they indeed that they may receive a corruptible crown; but we an incorruptible one.
Era buli muntu awakana yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo balyoke baweebwe engule eryonooneka, naye ffe etayonooneka.
I therefore so run, not as at an uncertainty: I so fight, not as one beating the air:
Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng'atamanyi; nnwana bwe nti si ng'akuba ebbanga:
But I chastise my body, and bring it into subjection: lest perhaps, when I have preached to others, I myself should become a castaway.
naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga maze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.
Corinthians
Abakkolinso
NOW concerning the collections that are made for the saints, as I have given order to the churches of Galatia, so do ye also.
Naye okukuŋŋaanyizanga ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo.
On the first day of the week let every one of you put apart with himself, laying up what it shall well please him; that when I come, the collections be not then to be made.
Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja.
And when I shall be with you, whomsoever you shall approve by letters, them will I send to carry your grace to Jerusalem.
Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi:
And if it be meet that I also go, they shall go with me.
era oba nga kirinsaanira nange okugenda, baligenda nange.
Now I will come to you, when I shall have passed through Macedonia. For I shall pass through Macedonia.
Naye ndijja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ndiyita mu Makedoni:
And with you perhaps I shall abide, or even spend the winter: that you may bring me on my way whithersoever I shall go.
naye mpozzi ndituula gye muli katono, oba n'okumala ndimalayo biro bya ttoggo byokka, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna.
For I will not see you now by the way, for I trust that I shall abide with you some time, if the Lord permit.
Kubanga ssaagala kubalaba kaakano nga mpita buyisi: kubanga nsuubira okulwayo katono gye muli, Mukama waffe bw'alikkiriza.
But I will tarry at Ephesus until Pentecost.
Naye ndirwayo mu Efeso okutuusa ku Pentekoote;
For a great door and evident is opened unto me: and many adversaries.
kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era abalabe bangi.
Now if Timothy come, see that he be with you without fear, for he worketh the work of the Lord, as I also do.
Naye oba nga Timoseewo alijja, mulabe abeerenga gye muli awatali kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze:
Let no man therefore despise him, but conduct ye him on his way in peace: that he may come to me. For I look for him with the breatheren.
kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'oluganda.
And touching our brother Apollo, I give you to understand, that I much entreated him to come unto you with the breatheren: and indeed it was not his will at all to come at this time. But he will come when he shall have leisure.
Naye ebya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga.
Watch ye, stand fast in the faith,do manfully, and be strengthened.
Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi.
Let all your things be done in charity.
Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala.
And I beseech you, brethren, you know the house of Stephanas, and of Fortunatus, and of Achaicus, that they are the firstfruits of Achaia, and have dedicated themselves to the ministry of the saints:
Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumanyi ennyumba ya Suteefana, nga gwe mwaka omubereberye ogw'omu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu),
That you also be subject to such, and to every one that worketh with us, and laboureth.
nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naffe afuba.
And I rejoice in the presence of Stephanas, and Fortunatus, and Achaicus, because that which was wanting on your part, they have supplied.
Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza.
For they have refreshed both my spirit and yours. Know them, therefore, that are such.
Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe: kale mukkirizenga abali ng'abo.
The churches of Asia salute you. Aquila and Priscilla salute you much in the Lord, with the church that is in their house, with whom I also lodge.
Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe; n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe.
All the brethren salute you. Salute one another with a holy kiss.
Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
The salutation of me Paul, with my own hand.
Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange.
If any man love not our Lord Jesus Christ, let him be anathema, maranatha.
Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja.
The grace of our Lord Jesus Christ be with you.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
My charity be with you all in Christ Jesus. Amen.
Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina.
Corinthians
Abakkolinso
NOW I make known unto you, brethren, the gospel which I preached to you, which also you have received, and wherein you stand;
Kale mbategeeza, ab'oluganda, enjiri gye nnababuulira, era gye mwaweebwa, era gye munywereramu,
By which also you are saved, if you hold fast after what manner I preached unto you, unless you have believed in vain.
era gye mulokokeramu; mbategeeza ebigambo bye nnagibuuliriramu, oba nga muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere.
For I delivered unto you first of all, which I also received: how that Christ died for our sins, according to the scriptures:
Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;
And that he was buried, and that he rose again the third day, according to the scriptures:
era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;
And that he was seen by Cephas; and after that by the eleven.
era nga yalabikira Keefa; n'alyoka alabikira ekkumi n'ababiri;
Then he was seen by more than five hundred brethren at once: of whom many remain until this present, and some are fallen asleep.
n'alyoka alabikira ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakyali abalamu okutuusa kaakano, naye abamu beebaka;
After that, he was seen by James, then by all the apostles.
n'alyoka alabikira Yakobo; n'alyoka alabikira abatume bonna;
And last of all, he was seen also by me, as by one born out of due time.
era oluvannyuma lwa bonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole.
For I am the least of the apostles, who am not worthy to be called an apostle, because I persecuted the church of God.
Kubanga nze ndi muto mu batume, atasaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda.
But by the grace of God, I am what I am; and his grace in me hath not been void, but I have laboured more abundantly than all they: yet not I, but the grace of God with me.
Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi; n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere; naye nnakola emirimu mingi okusinga bonna: naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange.
For whether I, or they, so we preach, and so you have believed.
Kale oba nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.
Now if Christ be preached, that he arose again from the dead, how do some among you say, that there is no resurrection of the dead?
Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, abamu mu mmwe boogera batya nga tewali kuzuukira kwa bafu?
But if there be no resurrection of the dead, then Christ is not risen again.
Naye oba nga tewali kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukizibwa;
And if Christ be not risen again, then is our preaching vain, and your faith is also vain.
era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n'okukkiriza kwammwe tekuliimu.
Yea, and we are found false witnesses of God: because we have given testimony against God, that he hath raised up Christ; whom he hath not raised up, if the dead rise not again.
Era naye tulabika ng'abajulirwa ab'obulimba aba Katonda; kubanga twategeeza Katonda nga yazuukiza Kristo: gw'ataazuukiza, oba ng'abafu tebazuukizibwa.
For if the dead rise not again, neither is Christ risen again.
Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa:
And if Christ be not risen again, your faith is vain, for you are yet in your sins.
era oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe.
Then they also that are fallen asleep in Christ, are perished.
Kale era n'abo abeebaka mu Kristo baabula.
If in this life only we have hope in Christ, we are of all men most miserable.
Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n’essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.
But now Christ is risen from the dead, the firstfruits of them that sleep :
Naye kaakano Kristo yazuukizibwa mu bafu, gwe mwaka omubereberye ogw'abo abeebaka.
For by a man came death, and by a man the resurrection of the dead.
Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu.
And as in Adam all die, so also in Christ all shall be made alive.
Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.
But every one in his own order: the firstfruits Christ, then they that are of Christ, who have believed in his coming.
Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe.
Afterwards the end, when he shall have delivered up the kingdom to God and the Father, when he shall have brought to nought all principality, and power, and virtue.
Enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza.
For he must reign, until he hath put all his enemies under his feet.
Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye.
And the enemy death shall be destroyed last: For he hath put all things under his feet. And whereas he saith,
Omulabe ow'enkomerero aliggibwawo, kwe kufa.
All things are put under him; undoubtedly, he is excepted, who put all things under him.
Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna wansi w'ebigere bye. Naye bw'ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we.
And when all things shall be subdued unto him, then the Son also himself shall be subject unto him that put all things under him, that God may be all in all.
Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi w'oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.
Otherwise what shall they do that are baptized for the dead, if the dead rise not again at all? why are they then baptized for them?
Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo?
Why also are we in danger every hour?
Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera?
I die daily, I protest by your glory, brethren, which I have in Christ Jesus our Lord.
Nfa bulijjo, ndayidde okwenyumiriza okwo ku lwammwe, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe.
If (according to man) I fought with beasts at Ephesus, what doth it profit me, if the dead rise not again? Let us eat and drink, for to morrow we shall die.
Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa, tulye tunywe, kubanga tufa enkya.
Be not seduced: Evil communications corrupt good manners.
Temulimbwanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi.
Awake, ye just, and sin not. For some have not the knowledge of God, I speak it to your shame.
Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abalala tebategeera Katonda: njogedde kubakwasa nsonyi.
But some man will say: How do the dead rise again? or with what manner of body shall they come?
Naye omuntu alyogera nti Abafu bazuukizibwa batya? era mubiri ki gwe bajja nagwo?
Senseless man, that which thou sowest is not quickened, except it die first.
Musirusiru ggwe, gy'osiga teba nnamu wabula ng'efa:
And that which thou sowest, thou sowest not the body that shall be; but bare grain, as of wheat, or of some of the rest.
ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala;
But God giveth it a body as he will: and to every seed its proper body.
naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka.
All flesh is not the same flesh: but one is the flesh of men, another of beasts, another of birds, another of fishes.
Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja.
And there are bodies celestial, and bodies terrestrial: but, one is the glory of the celestial, and another of the terrestrial.
Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala.
One is the glory of the sun, another the glory of the moon, and another the glory of the stars. For star differeth from star in glory.
Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala: kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa.
So also is the resurrection of the dead. It is sown in corruption, it shall rise in incorruption.
Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda:
It is sown in dishonour, it shall rise in glory. It is sown in weakness, it shall rise in power.
gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi:
It is sown a natural body, it shall rise a spiritual body. If there be a natural body, there is also a spiritual body, as it is written:
gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo.
The first man Adam was made into a living soul; the last Adam into a quickening spirit.
Era bwe kityo kyawandiikibwa nti Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu. Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.
Yet that was not first which is spiritual, but that which is natural; afterwards that which is spiritual.
Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo.
The first man was of the earth, earthly: the second man, from heaven, heavenly.
Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka: omuntu ow'okubiri yava mu ggulu.
Such as is the earthly, such also are the earthly: and such as is the heavenly, such also are they that are heavenly.
Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bali bwe batyo: era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali; era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo.
Therefore as we have borne the image of the earthly, let us bear also the image of the heavenly.
Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu.
Now this I say, brethren, that flesh and blood cannot possess the kingdom of God: neither shall corruption possess incorruption.
Naye kino kye njogera, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda so okuvunda tekusikira butavunda.
Behold, I tell you a mystery. We shall all indeed rise again: but we shall not all be changed.
Laba, mbabuulira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa,
In a moment, in the twinkling of an eye, at the last trumpet: for the trumpet shall sound, and the dead shall rise again incorruptible: and we shall be changed.
mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.
For this corruptible must put on incorruption; and this mortal must put on immortality.
Kubanga oguvunda guno, kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa.