translation
dict
id
stringlengths
1
4
{ "en": "The deceased has an unknown identity.", "lg": "Omufu tamanyiddwa bimukwatako." }
200
{ "en": "The police examined the deceased body to make a medical report.", "lg": "Poliisi yeekebejjezza omulambo okusobola okukola alipoota y'eddwaliro." }
201
{ "en": "There is an increase in road accidents in Nebbi district.", "lg": "Obubenje bw'okukubo bweyongedde mu disitulikiti ye Nebbi." }
202
{ "en": "Drivers should avoid speeding.", "lg": "Abavuzi bateekeddwa okwewala okuvuga endiima." }
203
{ "en": "People failed to identify the body of the deceased.", "lg": "Abantu baalemereddwa okutegeera ebikwata ku mubiri gw'omugenzi." }
204
{ "en": "The body will be buried at the public cemetery.", "lg": "Omugenzi ajja kuziikibwa mu limbo ey'olukale." }
205
{ "en": "The police announced on radio stations for people to identify the body.", "lg": "Poliisi yalanze ku laadiyo abantu basobole okuzuula omufu y'ani?" }
206
{ "en": "There is corruption among district officials.", "lg": "Waliwo enguzi mu bakungu ba disitulikiti." }
207
{ "en": "The cattle provided by the government to the people were stolen.", "lg": "Ente gavumenti ze yawa abantu zabiddwa." }
208
{ "en": "Leaders slaughtered the cattle for meat.", "lg": "Abakulembeze basse ente okufuna ennyama." }
209
{ "en": "People did not receive the cattle provided by the government.", "lg": "Abantu tebaafunye nte gavumenti ze yabawadde." }
210
{ "en": "The police are carrying out investigations to recover the stolen cattle.", "lg": "Poliisi ekola okunoonyereza okuzuula ente enzibe." }
211
{ "en": "The people provided intelligence information regarding the whereabouts of the cattle.", "lg": "Abantu baawaddeyo amawulire agakwata ku mayitire g'ente." }
212
{ "en": "The councilor was arrested.", "lg": "Kansala yakwatiddwa." }
213
{ "en": "Leaders sold the animals to the people.", "lg": "Abakulembeze baaguzizza abantu ebisolo." }
214
{ "en": "The police was able to recover the animals.", "lg": "Poliisi yasobodde okuzuula ebisolo." }
215
{ "en": "The councilor sold the animals to non-beneficiaries.", "lg": "Kansala yaguzizza ebisolo eri abatalina kuziganyulwamu." }
216
{ "en": "The district leaders are greedy and selfish.", "lg": "Abakulembeze ba disitulikiti baluvu era beefaako bokka." }
217
{ "en": "Corrupt people will be arrested.", "lg": "Abali b'enguzi bajja kukwatibwa." }
218
{ "en": "The councilor was given a police bond.", "lg": "Kansala yaweereddwa akakalu ka poliisi." }
219
{ "en": "The councilor provided the cows to his voters.", "lg": "Kansala yawadde abalonzi be ente." }
220
{ "en": "Parents have insufficient funds to take their children to school.", "lg": "Abazadde tebalina sente zimala kutwala baana baabwe ku ssomero." }
221
{ "en": "Pupils are performing well in the primary leaving examinations.", "lg": "Abayizi bakola bulungi mu bibuuzo bya pulayimale eby'akamalirizo." }
222
{ "en": "The district should support the vulnerable people.", "lg": "Disitulikiti esaana okuyamba abantu abatalina mwasirizi." }
223
{ "en": "Schools should provide bursaries and sponsorships to bright students.", "lg": "Amasomero gateekeddwa okugabira abayizi abagezi bbasale ne sikaala." }
224
{ "en": "Women have participated in trading.", "lg": "Abakazi beenyigidde mu busuubuzi." }
225
{ "en": "Parents lack funds to sustain their families.", "lg": "Abazadde tebalina nsimbi kubeezaawo maka gaabwe." }
226
{ "en": "Some men abandoned their families.", "lg": "Abasajja abamu baasuulawo amaka gaabwe." }
227
{ "en": "The government will provide sponsorships to the vulnerable people.", "lg": "Gavumenti ejja kuwa abantu abateesobola obuyambi." }
228
{ "en": "Teachers are well paid in schools.", "lg": "Abasomesa basasulwa bulungi mu masomero." }
229
{ "en": "The school management cut the salaries for the absent teachers.", "lg": "Akakiiko akakulembera essomero kasaze emisaala gy'abasomesa abayosa." }
230
{ "en": "The district is performing well in education at a regional level.", "lg": "Disitulikiti ekola bulungi mu byenjigiriza ku mutendera gw'ekitundu." }
231
{ "en": "The schools will maintain the good performance.", "lg": "Amasomero gajja kunyweza okukola bulungi." }
232
{ "en": "The performance among pupils is improving gradually.", "lg": "Ensoma y'abayizi egenda erongooka mpola." }
233
{ "en": "Teachers do not complete the syllabus.", "lg": "Abasomesa tebamalaayo birambikiddwa kusomesa." }
234
{ "en": "Most of the youths lack jobs.", "lg": "Abavubuka abasinga tebalina mirimu." }
235
{ "en": "The police will arrest idlers on the streets.", "lg": "Poliisi ejja kukwata abataayaaya ku nguudo." }
236
{ "en": "People should engage in agricultural activities.", "lg": "Abantu bateekeddwa okwenyigira mu byobulimi n'obulunzi." }
237
{ "en": "The leaders will provide jobs to the youths.", "lg": "Abakulembeze bajja kuwa abavubuka emirimu." }
238
{ "en": "People should participate in the development of the society.", "lg": "Abantu bateekeddwa okwenyigira mu kukulaakulanya ebitundu." }
239
{ "en": "Men do not provide for their families.", "lg": "Abasajja tebagabirira maka gaabwe." }
240
{ "en": "Youths spend most of their time in gambling and gaming.", "lg": "Abavubuka bamala obudde bwabwe obusinga mu zaala n'emizannyo." }
241
{ "en": "Youths gamble to get some money.", "lg": "Abavubuka bazannya zaala okufuna ku ssente." }
242
{ "en": "Most of the youths are orphans.", "lg": "Abavubuka abasinga ba mulekwa." }
243
{ "en": "Leaders should work for the people.", "lg": "Abakulembeze bateekeddwa okukolera bantu." }
244
{ "en": "Youths should be forced to engage in economic activities.", "lg": "Abavubuka bateekeddwa okukakibwa okwenyigira mu byenfuna." }
245
{ "en": "Youths engage in criminal activities for example stealing.", "lg": "Abavubuka benyigira mu bikolwa ebimenya amateeka ng'obubbi." }
246
{ "en": "The government has created the youth livelihood fund for the youth projects.", "lg": "Gavumenti etonzeewo youth liverihood fund okuyamba ku pulojekiti z'abavubuka." }
247
{ "en": "Youths should work hard in order to become useful citizens.", "lg": "Abavubuka bateekeddwa okukola ennyo basobole okufuuka abatuuze ab'omugaso." }
248
{ "en": "Leaders have encouraged afforestation.", "lg": "Abakulembeze bakubirizza abantu okusimba emiti." }
249
{ "en": "People who cut down trees were fined.", "lg": "Abantu abatema emiti baatanzibwa." }
250
{ "en": "People should understand the significance of trees in the environment.", "lg": "Abantu bateekeddwa okumanya omugaso gw'emiti eri obutonde obutwetoolodde." }
251
{ "en": "Leaders organized a meeting to respond to the challenges faced by the people.", "lg": "Abakulembeze baategeka olukiiko okwanukula okusomoozebwa abantu kwe bayitamu." }
252
{ "en": "Government should enforce the environment laws.", "lg": "Gavumenti eteekeddwa okukwasisa amateeka g'obutonde." }
253
{ "en": "People cut down trees to get timber.", "lg": "Abantu basala emiti okufuna embaawo." }
254
{ "en": "The district provided tree seedlings to the people.", "lg": "Disitulikiti yagabira abantu endokwa z'emiti." }
255
{ "en": "People cut down trees to get firewood.", "lg": "Abantu batema emiti okufuna enku." }
256
{ "en": "People sell charcoal and get money.", "lg": "Abantu batunda amanda ne bafuna ensimbi." }
257
{ "en": "Timber is a source of revenue for the government.", "lg": "Embaawo zivaamu omusolo eri gavumenti." }
258
{ "en": "Trees act as wind breakers.", "lg": "Emiti gikola ng'ekiziyiza amanyi g'empewo." }
259
{ "en": "People demonstrated over the cutting down of shea nut trees.", "lg": "Abantu bekalakaasizza lwa kutema miti gy'ebinazi egya Shea." }
260
{ "en": "Mothers shunned postnatal care services in Nebbi.", "lg": "Bamaama beewaze obuweereza bw'obujjanjabi oluvannyuma lw'okuzaala mu Nebbi." }
261
{ "en": "Mothers don脮t go for healthcare services after delivery.", "lg": "Bamaama tebagenda kufuna bujjanjabi nga bamaze okuzaala." }
262
{ "en": "Mothers should be concerned about their health and newborn babies.", "lg": "Bamaama bateekeddwa okufaayo ku bulamu bwabwe n'abaana abaakazaalibwa." }
263
{ "en": "The attendance of mothers for postnatal care is low.", "lg": "Okujjumbira kw'obujjanjabi eri bamaama abamaze okuzaala kuli wansi." }
264
{ "en": "Mothers should feed on good food.", "lg": "Bamaama bateekeddwa okulya emmere ennungi." }
265
{ "en": "Mothers should sleep under a treated mosquito net.", "lg": "Bamaama balina okwebaka mu katimba k'ensiri akalimu eddagala." }
266
{ "en": "Mothers should go for antenatal care.", "lg": "Bamaama balina okugenda bakeberwe nga bali mbuto." }
267
{ "en": "Mothers cannot afford postnatal care services.", "lg": "Bamaama tebasobola kusasulira kulabirirwa okuddirira okuzaala." }
268
{ "en": "Health workers should be effective in providing health services.", "lg": "Abasawo bateekeddwa okubeera abakugu mu kuwa obujjanjabi." }
269
{ "en": "Hospitals retain delivery cards to force mothers to return for postnatal care.", "lg": "Amalwaliro gasigaza kaadi y'okuzaalirako okukaka bamaama okuddayo okufuna okulabirirwa oluvannyuma lw'okuzaala." }
270
{ "en": "Mothers think postnatal care services are irrelevant.", "lg": "Bamaama balowooza nti okulabirirwa mu ddwaliro oluvannyuma lw'okuzaala tekwetaagisa." }
271
{ "en": "Mothers are discouraged about postnatal care because no medical checkup is done.", "lg": "Bamaama baggwamu amaanyi ku lw'okulabirirwa nga bamaze okuzaala kubanga tewali kukeberebwa kukolebwa." }
272
{ "en": "Men abandon girls after impregnating them.", "lg": "Abasajja basuulawo abawala oluvannyuma lw'okubafunisa embuto." }
273
{ "en": "People are living in extended families.", "lg": "Abantu babeera wamu n'enganda." }
274
{ "en": "Girls are given empty promises.", "lg": "Abawala basuubizibwa empewo." }
275
{ "en": "People lack funds to pay for rent.", "lg": "Abantu tebaalina ssente kusasulira we bapangisa." }
276
{ "en": "The district should establish programs for single mothers.", "lg": "Disitulikiti zirina okussaawo pulogulaamu za bannakyeyombekedde." }
277
{ "en": "Fathers are living in a polygamous way of life.", "lg": "Bataata babeera mu bulamu bw'okubeera n'abakyala abangi." }
278
{ "en": "Men should be forced to provide for their families.", "lg": "Abaami bateekeddwa okukakibwa okulabirira amaka gaabwe." }
279
{ "en": "The police will arrest men who do not support their children.", "lg": "Poliisi ejja kukwaata abasajja abatalabirira baana baabwe." }
280
{ "en": "Men have been prosecuted in the courts of law for not providing for their families.", "lg": "Abasajja basimbiddwa mu mbuga z'amateeka olw'obutalabirira maka gaabwe." }
281
{ "en": "The police carried out investigations and the suspect was arrested and charged.", "lg": "Poliisi yakoze okunoonyereza era ateeberezebwa yakwatiddwa n'avunaanibwa." }
282
{ "en": "Watoto church provided help to the single mothers.", "lg": "Ekkanisa ya Watoto yawadde bannakyeyombekedde obuyambi." }
283
{ "en": "Some children were taken to the orphanage.", "lg": "Abaana abamu baatwalibwa mu maka ga bamulekwa." }
284
{ "en": "There are increasing cases of teenage pregnancies in the district.", "lg": "Emisango gy'abaana okufuna embuto nga bakyali gyeyongedde ku disitulikiti." }
285
{ "en": "There are increasing cases of domestic violence.", "lg": "Emisango gy'obutabanguko mu maka gyeyongedde." }
286
{ "en": "The district has provided help to the women so that they engage in business.", "lg": "Disitulikiti ewadde abakazi obuyambi basobole okwenyigira mu byobusuubuzi." }
287
{ "en": "The government has allocated funds towards achieving gender equality.", "lg": "Gavumenti etaddewo ensimbi okuyamba mu kutuukiriza omwenkanonkano mu baami n'abakyala." }
288
{ "en": "Every district will have a woman member of parliament.", "lg": "Buli disitulikiti ya kubeera n'omubaka omukyala mu paalamenti." }
289
{ "en": "The district has provided people with information about legal services.", "lg": "Disitulikiti ewadde abantu obubaka obukwata ku mateeka." }
290
{ "en": "Some people lack shelter.", "lg": "Abantu abamu tebalina we basula." }
291
{ "en": "The government will build houses for the people.", "lg": "Gavumenti ejja kuzimbira abantu amayumba." }
292
{ "en": "The local government has low revenue collection.", "lg": "Gavumenti y'ekitundu ekungaanya omusolo mutono." }
293
{ "en": "People should desist from the acts of violence.", "lg": "Abantu balina okwewala ebikolwa eby'obutabanguko." }
294
{ "en": "People should work hard and improve their standard of living.", "lg": "Abantu bateekeddwa okukola ennyo okulongoosa embeera zaabwe ez'obulamu." }
295
{ "en": "People should be sensitized about the dangers of gender based violence.", "lg": "Abantu bateekeddwa okuyigirizibwa ku kabi akali mu bukuubagano obwesigamiziddwa ku kikula ky'omuntu." }
296
{ "en": "Women have been given safe houses.", "lg": "Abakazi baweereddwa ennyumba ez'emirembe." }
297
{ "en": "Women are hardworking.", "lg": "Abakazi bakozi." }
298
{ "en": "The police barracks in Nebbi got burnt.", "lg": "Enkambi ya poliisi mu Nebbi yakutte omuliro." }
299