0 ebintu bizibu okimanyi maama womwana oyo yeetuze lwa bbaawe kuwasa mukyala mulala 1 tugenze mu kkanisa naye omubuulizi atulangidde okusaba ku nnaku enkulu zokka 2 bwolaba omuzeeyi nga akyattunka nokunoonya ssente omanya nti teyateekerateekera bulungi bukadde bwe 3 omunnyo gwa leero nga gukaawa nnyo 4 oteekeddwa okutabula obulungi eddagala eryo nga tonnaliwa mwana oyo 5 abakyala bonna abasatu be nnina bakolagana bulungi era buli omu afaayo eri munne 6 omulenzi oli ye mutuufu okusikira omusajja ono 7 ekikajjo kimu ku birime ebirimu ssente ennaku zino 8 kika kyamenvu ki ekisinga okukuwoomera 9 tombuulira bigambo bya mukazi oyo kuba nnabikoowa 10 baamukutte atoloka ne bamutuma ssengenge wa mirundi ebiri 11 nze nnabadde ssaagala bakimanye nti mbeera wano 12 wabula ekirwadde kya ssenyiga kikaabizza nabantu abakulu amaziga 13 olaba nekitabo ekitukuvu kigamba nti ataakole nokulya taalyenga 14 oba lwaki amaaso gannuma nnyo 15 ate kati olwo gwe ogenda kukola otya 16 enzijanjaba yekinnansi eyedda yali nnungi okukira eyensangi zino 17 abaana abaliwo ebiseera bino tebafaayo ku nsoma yaabwe 18 olowooza nti ku magezi ne ssente ki ekisinga 19 ekirwadde kino kitadde nnyo abantu ku bunkenke 20 okuva ssentebe lwe yatwaliddwa mu mmotoka tanaddamu kulabika 21 omuyizi wange gwe nnaleese okusomera wano nga simulaba 22 omusomesa waffe eyali atusomesa olufalansa takyajja ku ssomero 23 mukasa abadde kyajje agende mu kibuga enkuba netandika 24 kirungi okuwa abantu abakulu ekitiibwa 25 mukama waffe mutiitiizi atya nokusalawo kyova olaba nga tetugenda mu maaso 26 otera okulya ku bibala 27 omukyala oli yasooka kuggyamu ssente ze nga tannatwazika mmeeza 28 empuliziganyayo nabakozi mu kampuni yo kye kigireetera okukula oba okugwa 29 omusango gwe baamuvunaanye nti yaguzza emyaka kkumi emabega 30 nze sejjusa kugenda bweru kukola kuba buli kye nayitamu katonda yali yakimpandiikako dda okukiyitamu 31 omusajja tabalirwa nzaalo 32 ekyuma kya kasooli kikutte omuliro 33 njagala nnyo okulya ewa namwandu kuba amanyi okuyonja obulungi akafo ke 34 nga leero tonzuukusizza 35 bwoba oyagala omwana abeere mukwano gwo tomukuba 36 yazirika oluvannyuma lwokumugamba nti omwami we yawasa dda namba bbiri 37 owulira otya nga bagamba nti omwana oyo wuwo 38 buli muntu afuba nnyo okukola abeereko obulungi mu nsi eno 39 mu buli mbeera yonna omuntu asaanye akozese obwongo bwe 40 enkoko ensiike empoomera nnyo nnaddala nga temuli ssupu 41 ani amanyi okutontoma ku mmwe abali wano 42 okumalako ensangi zino oyina kuba mukujjukujju 43 wano we muleese omulwadde wammwe tewaliiwo ddagala 44 bwe kakutanda ne nsanga omulenzi oyo ewaka onguddeko 45 nalumiddwa nnyo okusanga ente yange evaamu amata amangi ngefudde 46 obusuuka buno nabwo mubwoze 47 nina okusiga ensimbi zange zonna nsobole okufuna ezisingawo 48 abaana abawala batuula bokka ku luuyi olumu nabalenzi ku lwabwe 49 ekigambo kirina kubeera ssuubi so si ssubi 50 yasanze omusota mu kaabuyonjo 51 olowooza okubeera nemmotoka kwe kubeera omugagga 52 omukazi eyeebikkirira aweebwa nnyo ekitiibwa mu bantu okusinga ateebikkirira 53 abantu abataasoma nabo bamanyi ebyobuwangwa 54 okulunda enjuki kusobola okkukolera ssente oba okufuuka bizinesi yo 55 banzigyako essimu nga nvuga emmotoka nneme kutegeera ku kumbikira kwa taata 56 byonna tubeera twetaaga okubimanya kubanga tubeera nekigendererwa 57 nakuloose ekiro nga tutudde wali wansi womuti gwomuyembe 58 katikkiro mwagala nnyo kuba atukubiriza buli kadde okubeera abakozi ennyo 59 namulaba ngagoba loole 60 lwaki mukuba abaana ababeera boogera olulimi oluganda 61 lwaki entebe za muno zonna nzirugavu 62 omuvubuka oyo mukozi nnyo 63 omusajja eyakoze akalango ako oba yabadde ku ki 64 okimanyi nti ebintu bye wampimira omulundi oguwedde tebyawera 65 abantu boludda lwa mukyala wange banjagala nnyo 66 ku nkoko zange olukumi ababbi bandekeddewo kikumi kyokka 67 nze ku lwange ndowooza nti tuli wano kuyiga 68 omuwanguzi wempaka zino alina okuba nga ataddemu nnyo amaanyi 69 bwoba wakwekebeza ndwadde yobukaba ngoli mufumbo genda ne mukyala wo 70 ani yatwala gomesi yange gye mbadde nsuubira okwambala enkya 71 bwoba tolina bigambo bituufu bya kukozeseza mu bantu sirikanga busirisi 72 muwogo era atawanyizibwa ebisolo ebimutakula okumulya 73 enjovu kisolo kinene nnyo lwakuba ate kirina akakira akatono 74 mukwano gwange yagenda mu bifo byabasawo bekinnansi okwetegereza engeri gye bajjanjabamu 75 ate era si kulima kwokka nokulunda nakwo kugasa mu nfuna yomuntu okuyimirizaawo abantu be 76 omuntu aggyayo ekiso oba ejjambiya nagalulira muntu munne nga tatiddeemu kumulesa bantu be 77 olaba akawuka ka korona katagaza amawanga ga nnagwedda ate olwo gano agaffe 78 ebitundu ebisinga obulungi mu nnunda yenjuki byebyo ebitafuna nnyo nkuba 79 akabanje akaagudde mu kifo kiri wakategeddeko 80 omwana oyo obuwanguzi bwe abujje mu kwesiga mukama katonda 81 kizibwe wange namugamba si kirungi kwewola ssente nga tolina mwogenda kuziteeka 82 ezo zonna nkiwa zaali nteekateeka za mukama 83 okkirizibwa okutuuka mu kifo kino singa obeera mukozi 84 amafuta agawunya wano olowooza gavudde wa 85 ente yange ebadde esinga okumpa amata eridde akaveera 86 okuyita kwa naluwuge kuva ku kusoma nnyo bitabo 87 omukyala oli agambye ogende mwogeremu alekere awo okutubuuza ebibuuzo ebingi 88 obudde bunaatera okuziba 89 omusajja abadde atambula nayasimula ababadde bamwetoolodde bonna badduse emisinde 90 katonda asaasidde abe kenya omulwadde wabwe owa corona atandise okuwona 91 akawala ako kakwano kange naye kalimba nnyo mu mboozi zaako 92 okumanya kwange okutono kundaga nti obugagga bantu 93 teweefuula nti gwe asinga obugezi mu kizimbe kino kyonna 94 nabadde nkukubira essimu kkutegeeza nti ngenda bweru ekiro kya leero 95 owange okimanyi nti emikolo gyokwanjula egyennaku zino gya kweraga bwerazi 96 tosaanye kupapa kubanga okyalina obudde bungi nnyo 97 kati omuntu yenna alina ssenyiga ateeberezebwa okuba ne corona 98 obadde ogenda kukola ki 99 omuwala oyo ayambala bulungi naye alemeddwa okufumbirwa 100 mwenna musooke mufulume ono amalirize okwera ekibiina kino nga bwe nnamugambye 101 amaduuka gaggalawo mangu 102 mu nzijanjaba yekinnansi obusawo bwagobereranga muntu abaana nabazzukulu 103 omuliro ogwakutte ennyumba ezineetoolodde gwa nneeraliikirizza nnyo 104 yawadde mukyala we ekirabo ku lunaku lwamazaalibwa ge 105 obadde okola mulimu ki 106 ngabakazi bwe baagala okubayambako ewaka nabasajja mubayambeko mu kuyingiza 107 obadde okimanyi nti ye gwe muntu gwe nsinga okwegomba 108 obadde olowooza ani agenda okkukolera emirimu gyo 109 omuyembe ogwo guwooma nnyo 110 oba lwaki buli ddagala lyomusujja liba likaawa nnyo 111 wuzi ezitunga engatto ngumu nnyo okusinga ezitunga ebitambaala 112 nalowoozaako nti oba bankyusiza abaana mu ddwaliro anti bonna baddugavu ate ffe nga tuli beeru 113 omuvubuka owekiwago abadde atambula ngagaziwa akubiddwa amasasi 114 ensowera esaasaanya endwadde 115 tewali buwanguzi awatali kusooka kulemererwa 116 abasaabaze abataagala kusasula bakumalako emirembe 117 abayizi bange bonna tebamanyi lungereza 118 ekibadde wano kibadde kibi nnyo 119 bwe yawulira ekivuze yatya nnyo nakacupa akaamuli mu ngalo ne kagwa 120 olunaku lwembaga yaffe lutuuse 121 olugambo abakyala baalufuula mulimu 122 enzikiriza yange tekkiriza bakazi basukka basatu 123 obadde nno ogezezaako okufaayo okusoma emboozi eziri ku lupapula 124 ku bawala abo ababiri abajja olowooza ani asingako obulungi 125 buli lwogema embuzi mu kiseera ekituufu oba otangira obulwadde obwandizirumbye 126 omusawo abadde akola ki 127 oba abaana ba wano baalaze wa 128 engoye zonna ze yabadde ayanise eggulo baazibbye 129 ensi wetuuse eweddemu ensa olaba noyo omusajja omukakkamu yatandika obubbi 130 buli kawungeezi tugenda ku kiyungu okufuna amazzi gokunywa 131 ensi erabika etuuse ku nkomerero kuba ebitusomooza mu bulamu biweze 132 yiika yettaka esobola okugendako ebikolo bya muwogo ebiri wakati wakasanvu nomutwalo 133 okimanyi nti abasomesa ku masimu gaabwe kubeerako mitwalo gya ssente 134 si kya bbeeyi nnyo okutandika okulunda embuzi 135 essimu yange yagudde mu mazzi kati tekyakola 136 okufuna obuwunga bwa muwogo olina kuba nga omwanise akabanga navaamu amazzi gonna agamulimu 137 tandika okusima ebinnya 138 nali mwagala nnyo naye nga teyeefiirayo 139 obukundi bwababbi bubeera bungi mu biseera nga tugenda okulonda 140 ennaku zino ensi yaffe yakwegendereza nnyo kuba ekiwambabantu kisusse 141 entimbe zotadde mu maddirisa zirabisizza bulungi ennyumba 142 omulimu guno mukulu nnyo eri buli muntu ali wano 143 oluganda lumu ku nnimi ezisinga obugagga mu uganda 144 ensi ekyakula ebeeramu obuvuyo mu bukulembeze bwayo 145 embeera etuuse ku ggwanga lino mbadde sigirabangako 146 omuwandiisi omulungi alina kubeera na bitendo ki 147 mulimu ki gwobadde okola ku kyeyo 148 abafumbo abaalwana luli wabalaba 149 eddagala lye baamuwa lyali terisobola kumuwonya musujja 150 nze sijjukira na kujjukira we twakoma nga twogera 151 abasirikale baatubuuzizza empapula ezitukkiriza okutambuza ebisolo 152 enzikiriza zonna ezitali ya busiraamu tezikkiriza musajja kuwasa mukazi asukka omu 153 wadde nga twagala nnyo amasanyu naye nobulamu tubufeeko 154 amaziga gamuyiseemu nga bamubikidde muganda we abadde abeera ebweru 155 ebintu ebisinga mu nsi nga eno eyaffe tuyiga biyige 156 ennaku zino nabatikiddwa e makerere bavuga booda booda 157 baatugambanga nti bwokuula erinnyo emmese ekuwa ssente 158 saabadde na ssente zimala 159 kino ekitundu kuva dda kimanyiddwa ku kulima ennyaanya 160 eyabadde abbye omwana baamaze ne bamukwata 161 ssente yonna eyokwewola si nnungi kuba ezaala obuzibu mu kugizzaayo 162 abantu essaawa ze beesiba nnyingi naye nga nkyupule 163 mbade sirabangako mbuzi nnene ngeyo etundibwa emitwalo nkaaga 164 okimanyi nti kati embeera yobudde etaataaganya nnyo abalimi 165 bwosukka wano omanya nti sigenda kukusasula ssente zo 166 ebintu bye tubadde tusuubira okufuna tetubifunye 167 tulina okuyamba abo bonna abali mu buzibu 168 ddi lwe twatuula kuba nze sijjukira 169 abayizi bano bateekeddwa okweyisiza obulungi ku bannaabwe 170 omusomesa akubiriza ennyo abaana ku ssomero bamukyawa 171 bwova mu kibuga kyaffe omwezi gumu gwokka osanga kikyuse nnyo 172 ebiseera bino bya bwerinde mu nsi yonna 173 ekyo kye wakoze nabadde sikikusuubirizaamu munnange 174 oteekeddwa okuwuliriza bantu abakulu nga boogera 175 obadde okimanyi nti mu ndwadde ezikwata omuntu olwobukyafu mulimu ekiddukano 176 nkyanoonya ensonga lwaki mukyala wange asinga kuba na mikwano gya baana bato 177 wamma nnyabo kyokoze kye kiragirwa okunaaba engalo nga tonnakwata omwana eyakazaalibwa 178 funayo abalenzi bakusitulireko entamu zemmere zino 179 mukwano gwange yali mugezi nnyo era kyampalirizanga okumwebuuzaako 180 amazzi ago tegalimu birungo byetaagisa mu mubiri 181 nabbosa aba yeddira ndiga mu bika byabaganda 182 obukugu bwa tekinologiya butuyambye okutondawo ebika bya muwogo ebitakwatibwa mangu bulwadde 183 tumenyereyo ebintu ebyenkizo byolina ku bantu abalala 184 saagala kulaba mwana oyo ngakaaba 185 piki piki zemipiira esatu ziyambye nnyo mu kutambuza ebyamaguzi 186 gwe kati ekyo kyakuyigiriza ki 187 abakazi abasalawo okugezza amabeere kibeera kibi nnyo 188 olusuku olwo luvaamu amatooke amanene ate nga ganyirira 189 si kirungi mukyala kwekuba kalifuuwa kuba aba asikiriza abasajja okumulaba 190 faayo nnyo okulaba nga abantu bokulembera bakwenyumirizaamu 191 abatuuze basattira lwomwana wessomero okusaddaakibwa 192 ekifo ekisinga obukulu mu kibuga okimanyi 193 ekibadde kimuleetera omusujja omusawo akizudde 194 katonda yamuwa ekitone kyokuzina naye yagaana okukikozesa okubaako kyatuukako 195 ekirwadde kirudde ebbanga nga kitubala embiriizi 196 banka zandikendeezezza ku magoba ge ziteeka ku looni 197 ako akantu kakunyumidde nnyo bambi 198 mpaayo omunaanaansi gwa siringi lukumi 199 ate era omukyala yenna omuzito tasaanye kukola mirimu minene 200 osaana oyige bwe bakola ssente olwo oyige engeri gye bazitereka 201 lwaki ogenda mu kibuga 202 lwaki toyagala kwambala ssaati njeru 203 obwenzi obungi ennyo ensangi zino buvudde ku bazadde kusala bintu ku buko 204 teesa buteesa nga toyomba 205 tusaba omukama katonda atukwatirwe ekisa 206 obwedda alinda obubaka ku ssimu alyoke atambule kyokka ngessimu ye yazikidde dda 207 wamma kituufu embwa bwekuluma otandika okuboggola 208 omwana azannye akazannyo ko ku ssimu nakawangula 209 munnange abalwadde bakusobera bwamala okuwona tayagala kusasula 210 abaaleeta omwana eyali yazaalibwa omugenzi ebbali baali bakambwe 211 mu butuufu omubbi kibadde kimugwanira okusibwa emyaka gye gyonna gyasigazza ku nsi 212 nja kusooka kujja nkulabe 213 enkolagana wakati wabasawo bekinnansi nabazungu eri nti bonna basooka kutendekebwa 214 kyova olaba katemba wo oyo yantama emyaka mwenda gyomuzannyidde omufunyeemu ki 215 edda nga tukyali bato baatugaananga okutuula ku masiga 216 ekibumba kye kitundu ekisinga omugaso mu mubiri gwomuntu 217 ekikongoliro kisobola okkukuula erinnyo singa oba okirumye 218 mu kulunda embuzi kikulu nnyo okumanya ekika kyogenda okulunda 219 mugambye ngampakanya nti omwana atannaweza myezi mukaaga taweebwa mmere 220 ani mukyala womukulembeze weggwanga 221 sivumirira ddagala lya kinnansi naye eddagala lyabwe erinywebwa lyonoona nnyo ekibumba 222 abakazi nno ennaku zino nga beefunyiridde emirimu egyaali egyabasajja 223 ani asobola okutuwandiikira erinnya lye ku lubaawo 224 bwolima ddoodo tewejjusa kuba kasita amera onoga bunozi okutuusa lwolikoowa 225 omuddo ogumu mu nnimiro gukola nga enva 226 mbadde nkuleetedde ebintu bingiko naye babikwatidde ku kisaawe 227 abadde yeebuuza ekikaabya omwana naye akizudde ngomwana alumizibwa mu kutu 228 abantu bonna bano balabika nga bayala nnyo 229 oteekwa okuba nga okoze bulungi okuweebwa ekifo wano 230 olubuto lwa nnyoola nga mizze eddagala nga siridde 231 mpulira nga neesunze ennyumba empya gye tugenda okuzimba 232 abalenzi abo bambala bulungi nga bagenda mu wooteeri ennungi 233 olunaku lwo olwasooka ku ssomero lino lwali lutya 234 amasannyalaze gayise mu laadiyo yange kati tekyayogera 235 essanyu limbugaanye nga mpulidde obubaka ku ssimu nga ndowooza nfunye ssente 236 nze mbadde njogera ku ssimu 237 ekisuubizo kye weeyama okakasa wakituukirizza 238 okufa kwayitirira ne bwe weesibira mu nnyumba okuli ekikomera ekiwanvu era kukusangayo 239 lwaki abantu abasinga beeyisa bulungi nga bali mu kisiibo 240 oba lwaki abantu abatalina ate be basinga okugula ebyebbeeyi 241 mpitira ku musajja oyo atunda ebinyeebwa anguzeeko kko 242 baleese ebyokuzannyisa byabaana ku ssomero kata abaana bagaane okudda ewaka 243 obutunda bwange bwonna bukaze 244 endiisa yembuzi ennungi yezireetera okulabika nokuba obulungi 245 ebyo byonna ebintu muleese bya ki 246 otunula ngomulwadde 247 omutamiivu abeera nga eyeebase naye nga ategeera bulungi nnyo 248 ayina emiti gyemiyembe ebitooke nemicungwa egisoba mu lukumi 249 kansuubire mwakubidde buli omu ateekeddwa okujja mu lukiiko luno 250 ani yakyusa empapula zange naziggya mwe nnazireka 251 ennaku kati ziweze kkumi na ttaano okuva lwe baggala amasomero 252 abantu abagagga tebagwa nnyo mu mukwano na kintu kyonna akyeggyako wonna wayagalira 253 guno omulimu tujja kusobola okugukola 254 omuvubuka yenna alina ebirooto ebirungi abeera wa mulembe nnyo 255 enjala ebadde egenda kututta 256 empale eno nagigula ssente nnyingi nnyo 257 abamu abatunda ebyokulya byoku kkubo tebabibikkako ne kugwako ensowera 258 akaveera ke yaguze kaabadde ka luwewere nnyo 259 okusabiriza kikolwa nnyo mu baana naddala abato 260 naye lwaki abasomesa basasulwa omusaala mutono ate ne gulwayo 261 yaleeta ebintu bitono nnyo era ne tumumma omukazi 262 ensomesa eno si nnungi nnyo eri abayizi abamu 263 mulekere awo okuwoggana kubanga muli bantu bakulu ekimala 264 taata wange alina ssente nnyingi 265 ekisinga obukulu nti naawe osomye era obitegedde 266 ekiseera kino abantu mu byalo bali mu nnimiro 267 musobola okulya emmere eyo yonna ne mugimalawo 268 mukyala wange yeewuunyizza ebyo bye namugambye eggulo era akedde kubimbuuza 269 okuteeka olukomera ku mbuzi zo we ziri kiyamba nnyo obutaliibwa bisolo byemabbali 270 omukubi webyuma mu kwanjula yabadde amanyi okwogeza obulungi ebyuma bye 271 ekizimbe kino wakizimbira ssente mmeka 272 sisobola kukkiriza mwana wange kwebaka nga talidde 273 wali olinnyeeko ku nnyonyi bukyanga ozaalibwa 274 twayombaganye ne mukyala wange nga entabwe eva kukulwawo kujjula mmere 275 genda olabe oba omukyala gwe nnakutumye akomyewo 276 omwana oyo alina empisa 277 abaana baatolose ku ssomero nga asikaali yeebase 278 buli yeesimbyewo ayimirireko tumulabe 279 obadde okimanyi nti omwezi ogwokubiri guba nennaku abiri mu mwenda oluvannyuma lwemyaka ena 280 mu bintu ebireetera omuntu obulabe mwe muli ensiri eziruma omuntu ne zimuleetera obulwadde 281 kuva buto nga nnyumirwa nnyo okulunda obumyu 282 buwooteeri obumu olina kwetuukira awatundirwa ebyokulya okusobola okkukolako amangu 283 abagoberezi ba kirisitu bakedde mu masinzizo olwaleero 284 amazzi amafumbe gawonya ennyoota okusinga agatali mafumbe 285 mwana ki asinga obwesigwa mu baana bo 286 lwaki nkubuuza ebibuuzo nga toyagala kuddamu 287 ekimeeza kino kirungi nnyo 288 lwaki abantu abasinga baagala nnyo okugenda ebweru 289 omufaaliso guno mulungi nnyo okwebakako 290 nakato gwe ayoza ebintu bye tunywereddemu ccaayi 291 funayo waakiri ekipapula ekikwogerako 292 enkola yokutwawulamu abayizi nabasomsesa nnagisiima 293 obulwadde bwa sukaali buluma nnyo okukira hepatitis b 294 abaana abasinga balemwa okukula obulungi olwensonga nti bakuluusanyizibwa 295 entandikwa ya buli kimu si ssente wabula mutwe gwo 296 abasajja abasinga obungi baagala abakyala abasukka mu omu 297 eggulo olubuto lwannumye nnyo ekiro 298 omunnyo guyitiridde mu nva 299 oteekeddwa okukimanya nti amaanyi gali mu mikono gyo 300 okusookera ddala neebaza ne ssekwebaza omulungamya wange olwokumpa obudde nokuntereeza mu bye mpandiise 301 buli lwolemera ku kintu kyoyagala omala nokiggyamu ekiramu 302 kirungi oyogere nga ddala omanyi bulungi kyogenda okwogerako 303 okulya amawolu buli lunaku kyaleetera omwana wa mulirwana okugejja olubuto 304 njagala nkwambaze kali akasaati kuba kalungi 305 mukwano gwange agenda nakunyumiza ekika kyomukazi gwayagala okuwasa nga mu butuufu tannazaalibwa 306 lwaki wano tetulinaawo kitabo kya bagenyi mwe tulina okuwandiika nga tutuuse 307 mu kavuvungano konna akabaddewo teri ayogedde ku ngeri abatalina waabwe gye banaayambibwamu 308 okimanyi giweze emyaka musanvu bukyanga tuva ku yunivaasite 309 baamusiba okumala emyaka mukaaga lwa kubba nte za taata we 310 omwana bwe yabuuzibwa maama we ku kyokwoza kaabuyonjo yaddamu nti takirinaamu buzibu 311 ndabyeko amaka agabadde amalungi nga gali ku musaala bwe gatandika okusabiriza 312 eh tufudde omuntu omukulu abadde alingiza omukyala anaabira mu kinaabiro 313 naye okimanyi nti ensibuko yakawuka ka corona ekyatankanibwa na kati 314 mu ndwadde ezisinga okutawaanya muwogo mwe muli mosaic ne rot 315 ntuuse ku nnyumba gye yansindikra mu kifaananyi nti yange nga mulimu abagirimu 316 ekkovu lirabika nga lyayise wano 317 ekyo kyali kirungi nnyo era nakisiima nnyo 318 omuyizi eyagwa mu kidiba ekiwugirwamu bazadde be basabye essomero libaliyirire 319 oluvannyuma lwokugoba maama wabaana bange ensi yanfundirira 320 mugire tutunuulire ebintu bino tubeeko kye tubyogerako 321 olunaku luyinza okukya ku makya nga gwe nannyini wano 322 amawulire agabadde ku laadiyo ogawulirizza 323 ebivvulu bye ebisukka mu bikumi ebitaano byonna biwereddwa 324 omwana alinnye omuti gwa ffene navaayo nagwa 325 teriiyo kintu kibi nga kusanga nga omulenzi gwobadde ogenda okwanjula omulinako oluganda 326 mubeere bayiiya nnyo okuva mu kukozesebwa kuba tekugaggawaza 327 amabaati gennyumba eyo galabika bulungi 328 amasiga okwatuziddwa entamu erimu emiwumbo gyemmere omusanvu gaguddemu 329 olina abaana bameka 330 omwezi bwe gwakuba ekoona olwo mba nsigalidde kulya capati na bijanjaalo 331 omutima gwange gwonna nnagukuwa 332 lwaki abantu bakyusizza obuufu ne bava ku kulima muwogo ne badda ku birime ebirala 333 ono ye bamungamba nti tasosola mu mawanga 334 mu ndabirira ya muwogo olina okukoola mu wiiki ssatu oba nnya oluvannyuma lwokumusimba 335 abakazi baalwanaganye lwomu ku bakyala okwagala omusajja oli gwe yayagala ko 336 obutabo obuyigiriza abantu okukozesa ebintu ebiguliddwa buteekebwe mu nnimi ennansi 337 namala mu ddwaliro emyezi ebiri nga nzijanjaba lubuto lwa butafaayo kumanya bye nnywa 338 endabirwamu yange yagudde nga ngiggya ku kisenge 339 okimanyi nti emiziro egimu mu ggwanga giriibwa 340 olunaku lwe wava wano twali tumanyi gwe atutte ekitabo 341 mutabani we asomera makerere 342 mbaliraamu mu ssente ezo olabe oba ziwera 343 effujjo eryakolebwa abayizi ba yunivaasite mu misinde terikkirizibwa 344 ekyama kiri mu kwagalana nokukolera awamu 345 tosooka kkuwuuliriza nsonga za mwami oyo ngomukyala tannakuwa ndowooza ye 346 nsuubiza munnange nti tolindekawo ne bwe nnaaba njavuwadde 347 tosirikira mize ngogirabye mu bantu wandiba oyina bosobola okutaasa 348 abasawo bekinnansi bassa eddagala lyabwe mu macupa 349 yitira wano tugende ffenna 350 abapangisa ennaku zino tebalina ssente 351 ate nno oba okyatenda essimu ne baleeta akuuma akateekako essimu omuliro 352 omukazi oyo atuukidde mu kitiibwa kya maanyi nnyo 353 weewalenga emikwano emibi 354 teekawo emikono ebiri osobole okulembeka ebinyebwa ebiwera 355 kyokka abasawo abajja ku mulimu nga batamidde bakusobera 356 omulwadde yenna asanga obuzibu bwakozesezza eddagala mu ngeri etaamugambibwa 357 ku lwomukaaga ngenda mu kyalo 358 olwokwagala okubuzaabuza mukama we kye yava ayimirira omulundi gumu 359 amazaalibwa go gabeerawo mu mwezi ki 360 ani yaleese ekimuli kino 361 nze nnina ekirooto kinene era luliba olwo ne kituukirira 362 okimanyi nti buno obugulumo bwe bateeka mu makubo nabwo bwonoona emmotoka 363 omusango gwe yawaaba mu kkooti na kati tegunnasalwa 364 ekikolo kya muwogo kino kiriko muwogo mungi 365 ndi musanyufu nnyo olwomwana wange okutandika okusoma 366 nja kusaba ontegezeeko singa oyagala obuyambi bwange 367 abavubuka balina okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina amaanyi 368 okusooka buli muntu yali amanyi nti omusajja oyo tazaala naye kati alina abaana basatu 369 abomukwano abaali ababiri ku ssomero lyaffe kati tebakyakolagana 370 tukoze tutya okukendeeza ku baana nabakyala abafiira mu ssanya 371 weegomba omuntu alya akawunga bulijjo 372 abateesa ku biteeso ebyo si birungi nnyo 373 omukwano gwennaku zino gwa kuvujjirira ssente 374 obusaanyi bwalya ebikoola byonna 375 obudde buno sisuubira muntu kubeera nga yeebase 376 ani ateekeddwa okukola omulimu guno 377 ebintu bino yabisoma era abimanyi nnyo 378 mwana gwe togenda mu ttooyi zabasomesa 379 onookomawo budde ki okundabako 380 omulundi gwe nnasooka okujja wano nnasooka kubula 381 gamba taata atuleetereyo ku munnyo nga akomawo 382 abasajja abatagendako safaali bamenya 383 akalowoozo akatono nga kabi ku kintu kayinza okukulemesa okukikola ne bwoba wa kukifunamu 384 gwe bangatta naye mu kkanisa yansuulawo mu myezi ebiri 385 mukadde wange musaasanyirizaako ssente nnyingi mu bulwadde 386 ekyaana ekito ekirungi bannange ekinyuma okusitula 387 waliwo ekintu ekinnumya omutwe ennaku zino 388 eddagala kitegeeza ekintu ekinywebwa oba ekiriibwa nga kigendereddwamu kulongoosa bulamu bwomuntu oba ekisolo 389 leero ogenda kwambala lugoye ki nga ojja 390 engeri omwana omuwere gye yalwadde kanya kumuyonsa 391 obuvune obwa maanyi bwetaaga amagezi nobukugu bwomusawo wekinnansi okuzuula kwe buva 392 maama wange omuto yagudde mu batemu katono bamutte 393 olowooza abasajja okuzaala ebweru kirina obuzibu 394 okulemererwa okugenda e bulaaya kyannuma nnyo kuba nali neesunze ennyonyi 395 omuntu gwe nali simanyi ye yantaasa kyokka nga be mmanyi tebanfuddeeko 396 essomero lintamye lwa baana abo kuntulugunya 397 omukazi alimye okumala emyaka etaano abeera atunulanga wataano 398 kyewuunyisa okusasula akakadde kensimbi ku ssomero ate ne bakusaba nobusawo bwa ssementi butaano 399 abantu bokuwasa bwe bambula nga mpasa oyo 400 abalimi balina okufaayo ennyo ku birime byabwe 401 ssentebe yagumizza abantu nti bagume kino si kyekirwadde ekisoose okubalukawo 402 nze nnalwawo okumanya nti omukulembeze oyo teyasoma 403 omuntu yenna ayagala okuva mu bwavu asobola okulima muwogo nafunamu ensimbi 404 waliwo essuubi nti abantu abamu ku baakwatibwa ekirwadde kya corona bagenda kussuuka 405 omusuubuzi oyo mugagga nnyo 406 naleeta akasowaani katono ku ssomero emmere gye bampa temmala 407 olina kukola masomo ga saayanseezi okusobola okufuuka omusawo 408 mu kusooka nali mmanyi nti buli gwe basiba abeera nomusango 409 omulunzi wenjuki era yatugambye nti nga banaawakula basooka kunyookeza enjuki ezimu ne zifuluma 410 omusuubuzi alina ssente nnyingi 411 gwe waakalaba abantu bameka abalya ebibala ebyo 412 teri mukulembeze ayagala kugabana buyinza na mulala 413 emyaka ebiri gye namala ku kyeeyo mu buwalabu gyangigiriza okukola ennyo 414 gwe olowooza nze nnabadde ssaagala kuwasa mukazi oyo 415 olukwe oluyitiddwamu okumuggya mu ntebe lubadde luzibu nnyo 416 ku babiri abo ani asinga okukola mu kibiina 417 osobola okumpandiikira ekintu kyonna kyoyagala nze ne nkikuwa 418 ennyambala yabayimbi abamu ennaku zino esaana kuwerebwa 419 baamukuba embooko nnyingi nnyo era ne zimuviirako okufa 420 si kirungi kusimba muwogo mu bifo ebirimu omujjuzo gwamazzi 421 lwaki wasalawo okusoma obusawo notasoma busomesa nga nze 422 ku lunaku lwabakyala onaabaawo oba tobeewo 423 mukwano gwange yangambye nti abaana babaavu bayina omukwano mungi eri bakadde baabwe 424 olowoooza ssente mmeka ezigula sanduuko ennungi 425 okusomesa nakuvaamu oluvannyuma lwobutansasula musaala gwange gwe nali nkoledde 426 wonna wosazeewo okulundira embuzi mbu walina okuba ngentambula yaawo nnyangu 427 bali abalala batunula butunuzi 428 engatto ya kanvaasi yesinga okunyumira ku mpale eno 429 mpaayo amannya waakiri ataano agabakulembeze mu kitundu kino 430 ekiwato kyomuyimbi oli kigonda nnyo kyova olaba nga azina nnyo 431 omukulu wessomero gwe baakakyusa okudda mu lino mukambwe nnyo 432 lwaki akatabo ako toyagala kukasoma 433 buli maka gasaanye gasimbenga eddagala okusobola okwejjanjaba 434 nze mbadde nsuubira nti ofuneyo ku kirowoozo ekirala 435 okumanyagana kwetaagisa okusobola okutaasa abooluganda okwezaalamu 436 naye ddala mu kutya katonda amagezi mwe gasookera 437 temusaanidde kutwalira mateeka mu ngalo bwe mutyo 438 abalungi ndabye bangi naye mpulira sibaagala 439 sitera kwesiga bantu naye gwe nkwesiga ekigenze ewala 440 gavumenti ekubiriza nnyo abantu okwettanira ebyobulimi 441 bwofuna omuzinga nogusiba ku muti enjuki zijja kugujjamu era otandikire awo okulunda 442 omukazi oyo aweereza bulungi pulogulaamu eyo 443 siyinza kugenda waka nga sitwalidde maama wange ttooke 444 taata wange yasongera kojja wange gyateeka obuwangwa bwensolo zatta 445 obuyonjo bwetaagisa nnyo mu kiseera nga kino 446 obwedda alabiriza muliraanwa ayingire mu nnyumba olwo alyoke abbe engoye ku waya 447 omusajja yasimba emiyembe yiika nga kikumi era sizoni bwetuuka ayoola ensimbi 448 abavunaanyizibwa ku bisolo bagaanye okuwuliriza omulanga gwaffe 449 atalina maanyi okimanyi nti tagwa ddalu 450 kabaka wa buganda yalondebwa okubeera omusaale mu kulwanyisa mukenenya 451 neewunya ensi yaffe okuba nga abantu tebakyakola naye oli nayongeza ebbeeyi yebintu 452 mpitiraako kwoyo owenjala bambi ansale ku njala 453 ondeeterayo omubisi gwenjuki 454 abayimbi abasinga ettutumu beebo abayimba ku mukwano 455 yali tasaana kugoba mukazi oyo kuba baali bavudde wala 456 bwoba wakukulaakulana kikwetaagisa okutereka ensimbi osobola okuzisiga 457 ssemaka bamukutte lubona nga abba emmere ya mutuuze munne 458 ekibala kino kiwooma nnyo era nze ndowooza nti tukigule 459 enkuba ekedde okutonnya etaataaganyizza entambula yange 460 omukubiriza wolukiiko olwo abadde ne kyekubiira 461 sirina nnyo buzibu bwe nnafuna nga ndi lubuto 462 bwe nnamugamba tetuzaala bangi nalemwa okukitegeera 463 ekikulu kiri nti buli muntu alina obuyinza okwesalirawo 464 ebitundu ebimu tebinnafuna kawunga ka gavumenti 465 omusajja eyabadde andeetako yankoledde ekisa kingi nnyo 466 akanyonyi kayingidde mu kibiina nga tusoma 467 tugenda kusimba bummonde buzungu 468 bwe nzijukira ebiwanuzibwa ku mumpembe eyasalangako bantu banne emimwa bineewuunyisa 469 gwe wandisirise notayogera kuba wanyiizizza dda 470 bwobeera nabakyala abassuka mu omu mu bufumbo omu bwakunyiiza ngowummulira ewomulala 471 enkuba etonnya buli lunaku 472 okufa lugendo era olutambula bwomu 473 endwadde zizze zibeerawo mu nsi naye bambi obulwadde buno butta bubi 474 abantu abaalemererwa era abalina endowooza enkyamu balowooza nnyo naye bakola kitono 475 obuyonjo kimu ku bintu ebisuubirwa mu muvubuka owomulembe omutebi 476 akaseera kano waliwo abantu abamu nga beebase 477 simanyi oba nsobola okumusonyiwa 478 nnasazeewo okusiba ennyama kuba eddiini tekigaana 479 baalagaanye kusisinkana wano naye omu olutuuse ate poliisi nemukwata 480 olowooza obuzibu bwekyuma kino buva ku ki 481 waliwo ttiimu egudde ku kabenje era bamu bafiiriddewo 482 nfunyemu nnyo mu kwegatta kwabalimi kuba nsobola okubuuza ebibuuzo 483 nze ngenda okuba nga mbasomesa olulimi oluganda mu lusoma luno 484 ekigatto kino nga kirungi kya mmeka 485 buli lwoliraana omuntu akusingako mu buli kintu obaako kyoyiga 486 omukazi eyabuuzizza bye bafumba mu kawooteeri baamusongedde ku kisenge 487 obuyaaye bubi naye ate abantu abamu babufunyeemu 488 okuwasa omukazi mu bufumbo obutukuvu kirungi kuba abaana bammwe babeera batukuvu 489 naye nga onzunzizza nnyo 490 omutwe bwe gubeera gukuluma fuba okulaba nga omira eddagala 491 tugende ku dduuka tufuneyo ku byokulya 492 omulimu gwokuwandiika emboozi gugenda guzibuwala era gwandinnema 493 amaduuka agatunda ebintu ebifaanagana gabeera geeriraanye 494 omuyizi yabuuzizza omulunzi wenjuki ebizibu ebiri mu kulunda enjuki 495 naye okimanyi nti ensibuko yakawuka ka corona ekyatankanibwa na guno gwaka 496 nsobola okutunda embuzi nga amakumi abiri buli wiiki 497 amasomero agamu tegawa maanyi kusomesaamu 498 oyina kutereeza eriyo eyo tusobole okufuna ekifaananyi ekirungi 499 nze ku lunaku olwo nnakizuula nti okwerabira kya buntu 500 omwana oyo yansobera tanaaba mu ngalo ngava mu ttooyi 501 sisobola kkwata bye nsoma mu mutwe nga ntaddeko laadiyo 502 abayizi abamu basaakiriza nnyo banaabwe basobole okulwana 503 twasembayo kulabagana ku lunaku lwe twazannya omupiira 504 tubeebaza nnyo olwebyo byonna bye mutukoledde 505 edda nali njagala nnyo okulya obunyama bwoku kkubbo naye nga bulumya olubuto 506 waliwo ebiseera bye weetaaga ssente naye nga toziraba 507 ssaagala ogeraageranye bintu byotamanyi 508 bwe mmalirizza okuwaayo empapula zange ne mpulira ngobulamu bukomyewo 509 okuteekateeka okulonda kyetaagisa ensimbi nnyingi nnyo 510 mwebale nnyo okumpuliriza bakulu bannange 511 gavumenti bwerivaayo neyongera amaanyi mu tteeka lyebiyiiye abayiiya balitandika okubifunamu 512 baali balowooza nti nakoma naye mukama nankwatirako ne nzira engulu 513 omwenge omungi mubi nnyo 514 lwaki weewola ssente nga tolina nteekateeka gyozikoledde 515 osobola okusomesa eddiini mu ssomero 516 ttaano 517 musanvu 518 ye 519 emu 520 mukaaga 521 bbiri 522 munaana 523 nedda 524 ssatu 525 abaana bano babadde bawoggana 526 omwana oyo yali musiru mu kibiina naye kati mugagga 527 mwenda 528 nasindika ssente ku ssimu yange naye tezaatuka 529 omubaka bukyanga alondebwa tateesangayo wadde ekiteeso ekimu 530 nteraako emmere ntono nnyo kuba gye tuva tusoose kulya 531 yagenda okuyingira ekidaala nga buli muntu amulinze 532 oba lwaki omuntu bwakuyisa obubi naawe nomuyisa bubi anyiiga nnyo okukusinga 533 ndi musajja mukenkufu nnyo asaanira okuweebwa omulimu wano 534 ekifuba ne ssenyiga bisumbuwa nnyo mukazi wange 535 naye mu butuufu bbaasi bwe zirijja nga bwe batusuubiza omujjuzo gujja kukendeera 536 naye mu butuufu abavuzi ba booda booda bagobebwe mu kibuga 537 ebintu naddala engoye bisaana kuba nga si bya buseere 538 enkuba bwetonnya ate omuntu ne yeeraliikirira ebisooto 539 gamba omukazi oyo atuwe emmere 540 tekinologiya ayonoonye abantu 541 essowaani evudde ku mmeeza negwa wansi naye teyatise 542 obadde olowooza nti neerabidde nti nkubanja ssente zange 543 wabula omulembe gugenda gukyuka buli lukya kati osobola okugula amasannyalaze ku ssimu 544 bwobeera ku mikutu gi mugattabantu si kyangu kumanya kituufu 545 ennaku zino ssennyiga mungi nnyo mu bantu 546 munnabyabufuzi asaanidde okuba omuntu omwesimbu 547 omwana ono gwe amwonoonye kuba yali mwana mulungi 548 oteekeddwa okumanya eddaala lyoliko buli wantu wobeera 549 omwana muzibe yeewuunyisizza nnyo abazadde bwe yasunye obulungi endongo 550 mukyala wange afumba eka teyali mwangu nga mmukwana 551 ettaka lya buseere ennaku zino 552 nze naawe obulamu bubeera bunnyumira nnyo 553 njagala ntambuleko nsobole okugenda ku masomero agali akumpi wano 554 kyewuunyisa nti amin yawolako ensi za buwarabi ensimbi okwekulaakulanya 555 nze nali sinnaba kukola kintu kyonna ku ssomero lino 556 ekire kyenkuba kikedde kutonnya era ne kireeta empewo mu kibuga 557 omulimi emiti gya muwogo gyagenda okusimba agitereka ewatali musana ate nga wakalu 558 abantu abamumanyi batono nnyo era tasobola kuwangula kalulu 559 olugero luno luggwayo lutya 560 engeri omusomesa oyo gyawandiikamu yandibadde musawo kuba be bawandiika obubi 561 eyo essaati singa osalawo okugigula nnange nkusasulirako 562 lwaki abantu abatta bannaabwe tebaweebwa bibonerezo bikakali 563 olaba ne mugandawo taata ne maama nga yomu akutta olwo mukwano gwo 564 omululu kintu kibi nnyo 565 enviri kye kitiibwa kyabakyala 566 musaanidde mulekere awo okunnyooma kuba si kirungi 567 gendako e kampala olabe abantu bwe batuuyana okufuna ssente ekiro nemisana 568 mpulira nga neesunze okuwulizaako okuva gyoli 569 njagala okutuusa obweyamo bwange eri abasomesa bange nti nja kukyusa empisa zange 570 ogusajja ogwo sigwagala naye guneesibako 571 embeera yobwavu yansindiikiriza okuyingira mu magye 572 nsonga ki ekuviiriddeko okukola otyo emirimu 573 ekikopo ekyo wandibadde okiggyawo wansi awo 574 omukulembeze abeera kyakulabirako 575 waliwo eyamenye ennyumba yange nabba ebintu byange ebyomugaso 576 lwaki togendako mu ssinzizo ne weenenya ebibi byo 577 omukulembeze aweze entambula eyolukale okuva nolunaku lwenkya 578 naye ate nsuubira nti tusaanidde okweyisiza obulungi ku bantu 579 weebale nnyo emirimu gyokola 580 amasinzizo nno agasinga gaggaddwa olwekirwadde ekya corona 581 waliwo nno abenzikiriza mu ggwanga lyaffe abalowooza nti osobola okusaba obusabi obulwadde ne bugenda 582 omukulembeze weggwanga afaayo eri abantu be 583 enkoko erwanaganye nekinyonyi nga kitwala akaana kaayo